We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Yeremiya 21

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Yeremiya 20 Yeremiya Yeremiya 22 →

1Kino kye kigambo ekyajja eri Yeremiya okuva eri Mukama, kabaka Zeddekiya bwe yamutumira Pasukuli mutabani wa Malukiya ne Zeffaniya kabona mutabani wa Maaseya okumugamba nti,

2“Tubuulize kaakano ku Mukama kubanga Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atulumbye. Oboolyawo Mukama anatukolera ekyamagero ng’edda, Nebukadduneeza n’atuleka.”

3Naye Yeremiya n’abaddamu nti, “Mugambe Zeddekiya nti,

4‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri nti, Nnaatera okuboolekeza ebyokulwanyisa byammwe ebiri mu mikono gyammwe bye mukozesa okulwanyisa kabaka w’e Babulooni n’Abakaludaaya ababazinze ne beetooloola ebweru wa bbugwe w’ekibuga kyammwe. Nzija kubakuŋŋaanyiza munda mu kibuga kino.

5Nze kennyini nzija kubalwanyisa n’omukono gwange ogw’amaanyi, ogugoloddwa mu busungu, n’ekiruyi n’obukambwe obungi.

6Era ndittisa kawumpuli omubi, abantu awamu n’ensolo enkambwe, mu kibuga kino.

7Oluvannyuma lw’ekyo, nnaawaayo Zeddekiya kabaka wa Yuda, n’abakungu be n’abantu bonna mu kibuga kino abanaaba bawonye kawumpuli, ekitala n’enjala ebya Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’abalabe baabwe ababanoonya okubatta. Nebukadduneeza anaabatta n’ekitala, taabalage kisa n’akatono wadde okubasaasira oba okubasonyiwa.’

8“Era abantu bagambe nti, ‘Bw’ati Mukama bw’ayogera nti: Laba mbateereddewo ekkubo ery’obulamu era n’ekkubo ery’okufa.

9Buli anaasigala mu kibuga kino ajja kufa ekitala, oba enjala oba kawumpuli. Naye buli afuluma ne yeewaayo eri Abakaludaaya ababazingizza, ajja kuba mulamu, era anaawonya obulamu bwe.

10Mmaliridde okuleetera ekibuga kino akabi so si mirembe, bw’ayogera Mukama. Kijja kuweebwayo mu mikono gya kabaka w’e Babulooni, era ajja kukizikiriza n’omuliro.’

11“N’ekirala gamba ennyumba ya Yuda ey’obwakabaka nti, ‘Wulira ekigambo kya Mukama;

12ggwe ennyumba ya Dawudi,

13Laba nkugguddeko olutalo,

14Nzija kubabonereza ng’ebikolwa byammwe bwe biri,

← Yeremiya 20 Yeremiya Yeremiya 22 →

Yeremiya 21 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™