We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Yeremiya 22

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Yeremiya 21 Yeremiya Yeremiya 23 →

1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Serengeta ogende mu lubiri lwa kabaka wa Yuda

2olangirire obubaka buno nti, Wulira ekigambo kya Katonda ggwe kabaka wa Yuda, ggw’atuula ku ntebe ya Dawudi, mmwe abakungu n’abantu bammwe abayita mu miryango gino.

3Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Musale emisango egy’ensonga, mukole ebituufu. Anyagiddwako ebibye mumuggye mu mukono gw’oyo amujooga. Temukola kibi oba eby’obukambwe eri omugwira, newaakubadde atalina kitaawe, newaakubadde nnamwandu so temuyiwa musaayi gw’abantu abataliiko musango mu kifo kino.

4Kubanga bwe muneegendereza ne mukuuma ebiragiro bino, olwo bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi baliyita mu miryango gy’olubiri luno nga batudde mu magaali gaabwe n’abo abeebagadde embalaasi nga bawerekerwako n’abakungu baabwe, n’abantu baabwe.

5‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”

6Kubanga kino Mukama ky’agamba ku lubiri lwa kabaka wa Yuda nti,

7Ndikusindikira abakuzikiriza,

8“Abantu abava mu mawanga amangi baliyita ku kibuga kino nga beebuuzaganya bokka ne bokka nti, ‘Lwaki Mukama yakola ekintu ekifaanana bwe kiti ku kibuga kino ekikulu bwe kiti?’

9Era eky’okuddamu kibeere nti, ‘Kubanga beerabira endagaano ya Mukama Katonda waabwe ne basinza era ne baweereza bakatonda abalala.’ ”

10Temukaabira kabaka afudde

11Kubanga kino Mukama ky’agamba ku Sallumu mutabani wa Yosiya kabaka wa Yuda eyasikira Yosiya n’afuuka kabaka wa Yuda naye n’atwalibwa. “Talidda.

12Alifiira eyo gye baamutwala nga musibe, taliraba nsi eno nate.”

13“Zimusanze oyo azimba olubiri ku butali butuukirivu,

14Agamba nti, ‘Nzija kwezimbira olubiri olunene

15“Okweyongerayongera emivule emingi kikufuula kabaka?

16Yalwanirira abaavu n’abali mu bwetaavu

17“Naye amaaso gammwe n’emitima gyammwe

18Noolwekyo kino Mukama ky’ayogera ku Yekoyakimu omwana wa Yosiya kabaka wa Yuda nti,

19Aliziikibwa

20“Genda mu Lebanooni okaabe,

21Nayogera gy’oli ng’okyali mu biseera byo eby’obugagga

22Empewo erikunguzza abalunzi b’ebisibo byo bonna,

23Mmwe abali mu Lebanooni,22:23 lwe lubiri oluli mu Yerusaalemi

24“Ddala ddala nga bwe ndi omulamu, wadde ggwe Koniya omwana wa Yekoyakimu, singa wali mpeta ey’obuyinza ku mukono gwange ogwa ddyo, nandikusiseeko,” bw’ayogera Mukama.

25“Ndikuwaayo eri abo abanoonya obulamu bwo, abo bootya, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni era n’eri Abakaludaaya.

26Ndikusuula mu nsi endala gye mutaazaalibwa, ggwe ne maama wo eyakuzaala, era eyo mwembi gye mulifiira.

27Temulidda mu nsi gye mwegomba okuddamu.”

28Omusajja ono Koniya kintu ekinyoomebwa,

29Ayi ggwe ensi, ensi,

30Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

← Yeremiya 21 Yeremiya Yeremiya 23 →

Yeremiya 22 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™