1Bw’ati Mukama bwe yaŋŋamba nti, “Genda ogule olukoba olwa linena olwesibe mu kiwato kyo, naye tolunnyikanga mu mazzi.”
2Bwe ntyo ne neegulira olukoba, nga Mukama bwe yandagira, ne ndwesiba mu kiwato kyange.
3Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira omulundi ogwokubiri
4nti, “Ddira olukoba lwe wagula lwe weesibye mu kiwato kyo ogende ku mabbali g’omugga Fulaati olukweke eyo mu lwatika lw’olwazi.”
5Bwe ntyo ne ŋŋenda ne ndukweka ku mabbali g’omugga Fulaati nga Mukama bwe yandagira.
6Ennaku nnyingi nga ziyiseewo, ate Mukama nandagira nti, “Genda kaakano ku Fulaati oleete olukoba lwe nakulagira okukwekayo.”
7Awo ne ndyoka ŋŋenda ku mugga Fulaati, ne nsimulayo olukoba ne nduggya mu kifo we nnali ndukwese. Naye laba, olukoba lwali lwonoonese, nga terukyalina kye lugasa.
8Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti,
9“Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, ‘Bwe ntyo bwe ndikkakkanya okwegulumiza kwa Yuda ne Yerusaalemi.
10Abantu bano aboonoonyi abagaana okukwata ebigambo byange, abagoberera obujeemu bw’emitima gyabwe ne bagoberera bakatonda abalala okubaweereza n’okubasinza, bajja kuba ng’olukoba olwo olutaliiko kye lugasa.
11Ng’olukoba bwe lunywerera mu kiwato ky’omuntu, bwe ntyo bwe nzija okwagala ennyumba ya Isirayiri yonna n’eya Yuda zinneesibeko,’ bw’ayogera Mukama, ‘balyoke babeere abantu bange, bagulumize erinnya lyange n’ettendo; naye bo ne batawulira.’ ”
12“Bagambe bw’oti nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda wa Isirayiri, buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo.’ Nabo balikuddamu nti, ‘Tetumanyi nga buli kita kiba kya kujjuza nvinnyo?’
13Olwo olyoke obagambe nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Laba nditamiiza abantu bonna abatuula mu nsi eno, ne bakabaka abatuula ku ntebe ya Dawudi ey’obwakabaka, ne bakabona, ne bannabbi n’abantu bonna ab’omu Yerusaalemi.
14Era buli omu alikoonagana ne munne, abalenzi ne bakitaabwe, bw’ayogera Mukama. Siribalumirwa, wadde okubaleka oba okubakwatirwa ekisa, ndibazikiriza.’ ”
15Wuliriza ontegere okutu;
16Mukama Katonda wo
17Naye bwe mutaafeeyo,
18Gamba kabaka era ne namasole nti,
19Ebibuga by’e Negebu biggaddwawo,
20Muyimuse amaaso gammwe
21Muligamba mutya Mukama
22Era bwe weebuuza nti,
23Omuwesiyopya ayinza okukyusa olususu lw’omubiri gwe
24“Ndibasaasaanya ng’ebisusunku
25Guno gwe mugabo gwo
26Nze kennyini ndibikkula engoye zammwe ne nzibikka ku mitwe gyammwe,
27Ndabye obwenzi bwammwe