1“Zibasanze abaana abajeemu,
2“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,
3Naye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,
4Newaakubadde nga balina abakungu mu Zowani
5buli muntu aliswazibwa
6Obunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:
7Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.
8Genda kaakano, okibawandiikire ku kipande,
9Weewaawo bano bantu bajeemu,
10Bagamba abalabi nti,
11Muve mu kkubo lino,
12Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,
13ekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
14Alimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
15Weewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,
16Wayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’
17Abantu olukumi balidduka
18Songa Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
19Mmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula.
20Newaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona,30:20 keberako mu bitabo ebirala okwongera okunnyonnyolwa ebigambo ebyo abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go.
21Bw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.”
22Olwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”
23Alibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi.
24Ente n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo.
25Mu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu.
26Omwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.
27Laba, erinnya lya Mukama liva wala
28Omukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
29Oluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
30Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
31Weewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,
32Buli muggo Mukama gw’anakukubanga
33Weewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;