1Zibasanze abo abaserengeta e Misiri okuyambibwa,
2Kyokka Mukama mugezi era asobola okuleeta akabi;
3Naye Abamisiri bantu buntu si Katonda
4Ddala ddala bw’ati bw’ayogera Mukama gye ndi nti,
5Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
6Mudde eri oyo gwe mwajeemera ennyo, mmwe abaana ba Isirayiri.
7Mu biro ebyo buli omu ku mmwe alisuulira ddala wala ebitali Katonda ebya ffeeza ne zaabu, emikono gyo egitali mituukirivu gye byakola.
8“Bwasuli kirigwa n’ekitala ekitali kya muntu;
9Ekigo kyabwe kirigwa olw’okutya,