We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Omubuulizi 6

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Omubuulizi 5 Omubuulizi Omubuulizi 7 →

1Waliwo ekibi ekirala kye ndabye wansi w’enjuba era kibuutikidde abantu.

2Katonda awa omuntu obugagga, n’amuwa ebintu ebingi awamu n’ekitiibwa, na buli mutima gwe kye gwetaaga n’akifuna; naye Katonda n’amumma okubisanyukiramu, kyokka omugwira n’ajja n’abisanyukiramu. Kino butaliimu era kya bubalagaze!

3Omuntu ayinza okuba n’abaana kikumi, n’awangaala; bw’atasanyukira mu bugagga bwe, era n’ataziikwa mu kitiibwa, ne bw’aba ng’awangadde nnyo, omwana afiira mu lubuto ng’agenda okuzaalibwa amusingira wala.

4Omwana oyo ajja nga taliiko ky’amanyi n’agendera mu butamanya era n’erinnya lye ne libulira mu butamanya.

5Newaakubadde talabye njuba, wadde okubaako ky’amanya, kyokka awummula bulungi okusinga omusajja oyo:

6omusajja oyo ne bw’awangaala emyaka enkumi bbiri, naye n’atasanyukira mu bya bugagga bwe. Bombi tebalaga mu kifo kye kimu?

7Buli muntu ateganira mumwa gwe,

8Kale omuntu omugezi asinga oyo omusirusiru?

9Amaaso kye galaba

10Buli ekibaawo ky’ateekebwateekebwa dda,

11Ebigambo gye bikoma obungi,

12Kale ani amanyi ekirungi eri omuntu, mu nnaku ezo entono z’amala mu bulamu bwe obutaliimu, obuli ng’ekisiikirize? Ani wansi w’enjuba ayinza okutegeeza ekirimubaako ng’avudde mu bulamu buno?

← Omubuulizi 5 Omubuulizi Omubuulizi 7 →

Omubuulizi 6 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™