1Weekuume ng’oyingira mu nnyumba ya Katonda; okumusemberera n’okumuwuliriza, kisinga okuwaayo ssaddaaka ng’ez’abasirusiru abatamanyi nga bakola ebibi.
2Toyanguyirizanga na kamwa ko okwogera ekigambo,
3Ng’okutawaana ennyo bwe kuleetera omuntu ebirooto,
4Bwe weeyamanga obweyamo eri Katonda tolwanga kubutuukiriza, kubanga tasanyukira basirusiru. Tuukirizanga obweyamo bwo.
5Obuteyama kisinga okweyama n’ototuukiriza kye weeyamye.
6Akamwa ko kaleme ku kwonoonyesa, n’ogamba oyo atumiddwa gy’oli nti, “Nakola kisobyo okweyama.” Kale lwaki weeretako okusunguwalirwa Katonda olw’ebigambo byo, n’azikiriza emirimu gy’emikono gyo?
7Ebirooto entoko n’ebigambo ebingi temuli makulu; noolwekyo otyanga Katonda.
8Bw’olabanga ng’omwavu anyigirizibwa mu ssaza, amazima n’obwenkanya nga tewali, teweewuunyanga! Kubanga omukungu waalyo alinako amusinga, ate nga bombi balina ababatwala.
9Bonna balya ku bibala bya nsi eyo; kabaka yennyini mu nnimiro zaayo mw’afuna.
10Oyo alulunkanira ensimbi, tasobola kuba na nsimbi zimumala;
11Ebintu nga bwe byeyongera obungi,
12Otulo tuwoomera omupakasi
13Waliwo ekibi ekinene kye nalaba wansi w’enjuba:
14ebyembi bw’ebigwawo eby’obugagga ebyo bibula,
15Omuntu nga bwe yava mu lubuto lwa nnyina n’ajja mu nsi nga talina kintu,
16Na kino kya bulumi bwereere:
17Era yamala obulamu bwe bwonna mu kizikiza ne mu buyinike,
18Ne ndyoka ntegeera nti kituufu omuntu okulya n’okunywa n’okulaba nga yeyagalira mu kutakabana ne mu kukola kwe wansi w’enjuba, mu nnaku ze entono Katonda z’amuwadde, kubanga ekyo gwe mugabo gwe.
19Ate Katonda bw’awa omuntu obugagga, n’ebintu n’amusobozesa okubyeyagaliramu, n’okutegeera omugabo gwe n’okusanyukira by’akoze, ekyo kiba kirabo ekivudde ewa Katonda.
20Emirundi giba mitono gy’alowoolezaamu ekiseera ky’obulamu ky’amaze, kubanga Katonda ajjuza omutima gw’omuntu oyo essanyu.