1Bano be baali batabani ba Isirayiri:
2ne Ddaani, ne Yusufu, ne Benyamini, ne Nafutaali, ne Gaadi ne Aseri.
3Batabani ba Yuda baali
4Tamali muka mwana wa Yuda, n’azaalira Yuda Pereezi, ne Zeera.
5Batabani ba Perezi baali
6Batabani ba Zeera baali
7Mutabani wa Kalumi ye yali
8Mutabani wa Esani ye yali
9Batabani ba Kezulooni baali
10Laamu n’azaala Amminadaabu,
11Nakusoni n’azaala Saluma,
12Bowaazi ye n’azaala Obedi ate Obedi n’azaala Yese.
13Yese n’azaala
14Nesaneeri nga ye wookuna,
15Ozemu n’aba ow’omukaaga,
16Bannyinaabwe be baali Zeruyiya ne Abbigayiri.
17Abbigayiri yali nnyina wa Amasa, ne Amasa n’azaala Yeseri Omuyisimayiri.
18Kalebu mutabani wa Kezulooni n’azaala abaana mu Azuba mukyala we ate era ne mu Yeriyoosi.
19Azuba bwe yafa, Kalebu n’awasa Efulaasi, eyamuzaalira Kuuli.
20Kuuli n’azaala Uli, Uli n’azaala Bezaleeri.
21Oluvannyuma Kezulooni, ne yeebaka ne muwala wa Makiri kitaawe wa Gireyaadi, gwe yali afumbiddwa nga wa myaka nkaaga, n’amuzaalira Segubu.
22Segubu n’azaala Yayiri, eyafuganga ebibuga amakumi abiri mu bisatu mu nsi ye Gireyaadi.
23Naye Gesuli ne Alamu ne bawamba ebibuga bya Yayiri, Kenasi n’ebyalo byayo, byonna awamu byali ebibuga nkaaga.
24Kezulooni ng’amaze okufa, Kalebu ne yeebaka ne maama we omuto Efulaasi eyali mukyala wa kitaawe, n’amuzaalira Asukuli, n’azaala Tekowa.
25Yerumeeri mutabani wa Kezulooni omukulu yalina batabani be bataano nga be ba
26Wabula Yerumeeri yalina omukyala omulala ng’erinnya lye ye Atala, era oyo yali nnyina Onamu.
27Batabani ba Laamu mutabani omukulu owa Yerameeri baali
28Batabani ba Onamu be baali
29Abisuli yalina omukyala erinnya lye Abikayiri, era n’amuzaalira Abani ne Molidi.
30Batabani ba Nadabu be baali
31Mutabani wa Appayimu yali
32Batabani ba Yada muganda we Sammayi be baali
33Batabani ba Yonasaani be baali
34Sesani ye yalina baana ba buwala bokka,
35Sesani n’awaayo omu ku bawala be okufuumbirwa omuddu we Yala, era omuwala n’azaala Attayi.
36Attayi n’azaala Nasani,
37Zabadi n’azaala Efulali,
38Obedi n’azaala Yeeku,
39Azaliya n’azaala Kerezi,
40Ereyaasa n’azaala Sisumaayi,
41Sallumu n’azaala Yekamiya,
42Omwana omukulu owa Kalebu muganda wa Yerameeri,
43Batabani ba Kebbulooni baali
44Sema n’azaala Lakamu,
45Mutabani wa Sammayi n’azaala Manoni,
46Efa omukazi omulala owa Kalebu yamuzaalira
47Batabani ba Yadayi baali
48Ate era Kalebu yalina omukazi omulala, Maaka eyamuzaalira
49Mukazi we oyo yazaalayo n’omwana omulala erinnya lye Saafu, eyazaala Madumanna.
50Abo be baali bazzukulu ba Kalebu.
51Saluma n’azaala Besirekemu, ne Kalefu n’azaala Besugaderi.
52Sabali eyazaala Kiriyasuyalimu, yalina abaana abalala nga be ba
53n’ebika ebya Kiriyasuyalimu nga be ba Abayisuli, n’Abapusi, n’Abasumasi, n’Abamisulayi. Muno mwe mwasibuka Abazolasi n’Abayesutawooli.
54Batabani ba Saluma baali
55n’ebika by’abawandiisi b’amateeka abaabeeranga e Yabezi, nga be b’Abatirasi, Abasimeyasi, n’Abasukasi. Bano be Bakeeni abasibuka mu Kammasi, era be baavaamu oluggya lwa Lekabu.