1Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama n’omutima gwange gwonna;
2Nnaasanyukanga era nnaajagulizanga mu ggwe.
3Abalabe bange bazzeeyo emabega,
4Kubanga owagidde ebiŋŋwanira, n’ensonga zange;
5Waboggolera amawanga, n’ozikiriza ababi;
6Abalabe obamaliddewo ddala,
7Naye Mukama afuga emirembe gyonna;
8Aliramula ensi mu butuukirivu,
9Mukama kye kiddukiro ky’abo abanyigirizibwa;
10Abo abamanyi erinnya lyo, Ayi Mukama, banaakwesiganga;
11Muyimbe okutendereza Mukama, atudde ku ntebe ey’obwakabaka mu Sayuuni;
12Ajjukira n’awoolera eggwanga
13Onsaasire, Ayi Mukama; otunuulire abalabe bange abangigganya,
14Ndyoke nkutenderezenga mu lwatu
15Abantu mu mawanga bagudde mu binnya bye baasima;
16Mukama yeeraze nga bw’asala emisango egy’ensonga.
17Ababi balisuulibwa emagombe;
18Kubanga abali mu kwetaaga tebalyerabirwa ennaku zonna,
19Ogolokoke, Ayi Mukama, tokkiriza muntu kuwangula;
20Bakankanye n’okutya, Ayi Mukama;