1Lwaki otwekwese, Ayi Mukama?
2Omubi, mu malala ge, ayigganya abanafu;
3Kubanga omubi yeewaana ng’anyumya ku bibi ebiri mu mutima gwe,
4Omubi mu malala ge
5Buli ky’akola kimugendera bulungi.
6Ayogera mu mutima gwe nti, “Sikangibwa,
7Mu kamwa ke mujjudde okukolima n’obulimba awamu n’okutiisatiisa;
8Yeekukuma mu byalo
9Asooba mu kyama ng’empologoma,
10B’abonyaabonya bagwa wansi
11Ayogera mu mutima gwe nti, “Katonda yeerabidde, amaaso ge agakwese,
12Golokoka, Ayi Mukama, ozikirize omubi, Ayi Katonda;
13Omuntu omubi ayinza atya okukunyooma, Ayi Katonda,
14Naye ggwe, Ayi Katonda, ennaku zaabwe n’okubonaabona kwabwe obiraba
15Malawo amaanyi g’omwonoonyi,
16Mukama ye Kabaka emirembe n’emirembe.
17Mukama awulira okwetaaga kw’ababonyaabonyezebwa, ogumye emitima gyabwe;
18Olwanirira abataliiko bakitaabwe n’abajoogebwa;