1Tukwebaza, Ayi Katonda.
2Mukama Katonda oyogera nti, “Neerondera ekiseera kye neetegekera
3Kyokka newaakubadde ng’ensi eyuuguuma abantu ne beeraliikirira,
4Nalabula ab’amalala bagaleke,
5Mukomye okuyimusa ejjembe lyammwe eri eggulu
6Kubanga okugulumizibwa tekuva mu ddungu
7wabula biva eri Katonda;
8Mukama akutte mu mukono gwe ekikompe eky’obusungu bwe
9Naye nze nnaatendanga obulungi bwa Mukama;
10Mukama ayogera nti, Ababi ndibamalamu amaanyi,