1Muyimbire Mukama n’essanyu mmwe abatuukirivu;
2Mutendereze Mukama n’ennanga,
3Mumuyimbire oluyimba oluggya;
4Kubanga ekigambo kya Mukama kituufu era kya mazima;
5Mukama ayagala obutuukirivu n’obwenkanya.
6Mukama yayogera kigambo, eggulu ne likolebwa;
7Yakuŋŋaanya amazzi g’ennyanja mu ntuumu,
8Ensi yonna esaana etyenga Mukama,
9kubanga yayogera bwogezi n’etondebwa,
10Mukama asansulula enteekateeka y’amawanga;
11Naye enteekateeka za Mukama zibeerawo nga nywevu emirembe gyonna;
12Lirina omukisa eggwanga eririna Katonda nga ye Mukama waalyo,
13Mukama asinziira mu ggulu
14asinziira mu kifo kye mw’abeera
15Ye y’ategeka ebirowoozo byabwe bonna
16Tewali kabaka asobola kuwona olw’obunene bw’eggye lye;
17Okusuubira embalaasi yokka okukuwanguza olutalo kuteganira bwerere;
18Naye amaaso ga Mukama galabirira abo abamutya;
19abawonya okufa,
20Tulindirira Mukama nga tulina essuubi,
21Mu ye emitima gyaffe mwe gijaguliza,
22Okwagala kwo okutaggwaawo kubeerenga mu ffe,