1Nnaakugulumizanga ggwe Katonda wange, era Kabaka wange;
2Nnaakutenderezanga buli lunaku;
3Mukama mukulu, wa kitiibwa, era asaanira okutenderezebwanga ennyo,
4Buli mulembe gunaatenderanga gunnaagwo ebikolwa byo,
5Nnaatendanga obukulu n’obulungi bw’ekitiibwa kyo,
6Abantu banaatendanga amaanyi g’ebikolwa byo eby’ekitalo,
7Banaayogeranga ku bulungi bwo obw’ekitalo nga bajaguza;
8Mukama wa kisa, ajudde okusaasira,
9Mukama mulungi eri buli muntu,
10Byonna bye watonda binaakutenderezanga, Ayi Mukama;
11Banaayogeranga ku kitiibwa ky’obwakabaka bwo,
12Balyoke bategeeze abantu bonna ebikolwa byo eby’amaanyi,
13Obwakabaka bwo, bwakabaka bwa lubeerera,
14Mukama awanirira abo bonna abazitoowereddwa,
15Amaaso g’abantu bonna gatunuulira ggwe, Ayi Mukama,
16Oyanjuluza engalo zo,
17Mukama mutuukirivu mu bikolwa bye byonna
18Mukama abeera kumpi n’abo bonna abamukoowoola;
19Abo bonna abamussaamu ekitiibwa abawa bye baagala,
20Mukama akuuma bonna abamwagala,
21Akamwa kange kanaatenderezanga Mukama,