1Atenderezebwe Mukama, olwazi lwange,
2Mukama anjagala ye Katonda wange era kye kiddukiro kyange,
3Ayi Mukama, omuntu kye ki ggwe okumufaako,
4Omuntu ali nga mukka.
5Yawula mu ggulu lyo, Ayi Mukama, okke!
6Myansa abalabe basaasaane,
7Ogolole omukono gwo ng’osinziira waggulu ennyo,
8ab’emimwa egyogera eby’obulimba,
9Ayi Mukama, nnaakuyimbiranga oluyimba oluggya;
10ggwe awa bakabaka obuwanguzi;
11Ndokola, omponye onzigye
12Batabani baffe mu buvubuka bwabwe, Ayi Mukama,
13Amawanika gaffe gajjule ebibala
14Ente zaffe ziwalule ebizito.
15Abantu abaweereddwa emikisa egyo beesiimye!