1Ebigambo bya kabaka Lemweri bye yayogera, nnyina bye yamuyigiriza.
2Ggwe mutabani wange, ggwe mutabani w’enda yange,
3Tomaliranga maanyi go ku bakazi,31:3 Abakazi aboogerwako wano be baweereza abakazi abangi ababeera mu lubiri; batabulatabula kabaka ng’akola emirimu gye
4Ggwe Lemweri, si kya bakabaka,
5si kulwa nga bagunywa ne beerabira amateeka,
6Ekitamiiza mukiwenga oyo ayagala okufa,
7Mumuleke anywenga yeerabire obwavu bwe,
8Yogereranga abo abatasobola kweyogerera,
9Yogera olamulenga n’obwenkanya,
10Omukazi omwegendereza ani ayinza okumulaba?
11Bba amwesiga n’omutima gwe gwonna,
12Aleetera bba essanyu so tamukola kabi,
13Anoonya ebyoya by’endiga n’anoonya ne ppamba,
14Ali ng’ebyombo by’abasuubuzi,
15Agolokoka tebunnakya,
16Alowooza ku nnimiro n’agigula;
17Omukazi oyo akola n’amaanyi omulimu gwe,
18Ayiiya ebyamaguzi ebirimu amagoba n’abisuubula,
19Anyweza omuti oguluka ppamba mu mukono gwe,
20Ayanjululiza abaavu omukono gwe,
21Mu biseera by’obutiti taba na kutya,
22Yeekolera ebibikka obuliri bwe,
23Bba amanyibbwa,
24Omukazi atunga ebyambalo ebya linena n’abitunda,
25Amaanyi n’ekitiibwa bye byambalo bye,
26Ayogera n’amagezi,
27Alabirira nnyo empisa z’ab’omu nnyumba ye,
28Abaana be bagolokoka ne bamuyita wa mukisa,
29“Abakazi bangi abakola eby’ekitiibwa
30Obubalagavu bulimba n’endabika ennungi teriiko kyegasa,
31Mumusasule empeera gy’akoleredde,