1Zino nazo ngero za Sulemaani abasajja ba Keezeekiya kabaka wa Yuda ze baakoppolola.
2Okukisa ensonga kitiibwa kya Katonda,
3Ng’eggulu bwe lyewanise waggulu ennyo n’ensi bw’ekka ennyo wansi,
4Effeeza giggyeemu ebisejja,
5Ggyawo abakozi b’ebibi mu maaso ga kabaka,
6Teweekuzanga mu maaso ga kabaka,
7Kubanga okukugamba nti, “Jjangu wano mu maaso,”
8Amaaso go bye galabye
9Bw’owozanga ne muliraanwa wo,
10akiwulira aleme okukuswaza;
11Ekigambo ekyogere nga bwe kisaanidde,
12Ng’empeta ey’omu kutu eya zaabu, oba akakomo aka zaabu ennungi,
13Ng’obunnyogovu bw’omuzira bwe bubeera mu biseera eby’okukunguliramu,
14Ng’ebire n’empewo omutali nkuba,
15Okugumiikiriza okungi kuyinza okukkirizisa omufuzi,
16Bw’ozuula omubisi gw’enjuki, lyako ogwo gwokka ogukumala,
17Tokyalanga lunye ewa muliraanwa wo,
18Omuntu awa obujulizi obw’obulimba ku muliraanwa we,
19Okwesiga omuntu ateesigika,
20Ng’omuntu eyeeyambula engoye mu kiseera eky’obutiti,
21Omulabe wo bw’aba alumwa enjala, muwe emmere alye,
22Kubanga oliba otuuma amanda g’omuliro ku mutwe gwe,
23Ng’empewo ey’obukiikakkono bwereeta enkuba,
24Okusulanga mu kasonda waggulu ku nnyumba,
25Ng’amazzi amannyogovu bwe gaba eri emmeeme erumwa ennyonta,
26Ng’oluzzi olusiikuuse, oba ensulo eyonoonese,
27Si kirungi kulya mubisi gwa njuki mungi,
28Omuntu ateefuga