We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Abaebbulaniya 2

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Abaebbulaniya 1 Abaebbulaniya Abaebbulaniya 3 →

1Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si kulwa nga tuwaba ne tubivaako.

2Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era n’ajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira,

3ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira.

4Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu by’ekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.

5Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika.

6Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,

7Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,

8n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”

9Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.

10Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi.

11Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be.

12Agamba nti,

13Era awalala agamba nti,

14Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani.

15Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa.

16Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu.

17Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu.

18Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.

← Abaebbulaniya 1 Abaebbulaniya Abaebbulaniya 3 →

Abaebbulaniya 2 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™