We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Abaruumi 8

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Abaruumi 7 Abaruumi Abaruumi 9 →

1Noolwekyo abo abali mu Kristo Yesu, tebaliiko musango; abo abatagoberera kwegomba okw’omubiri wabula ne bagoberera Omwoyo.

2Kubanga etteeka ery’Omwoyo aleeta obulamu mu Kristo Yesu, lyannunula okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa.

3Amateeka ga Musa kye gataayinza kukola, olw’okunafuyizibwa omubiri, Katonda yakikola mu Mwana we yennyini bwe yamutuma mu kifaananyi ky’omubiri ogw’ekibi, n’asalira ekibi omusango mu mubiri.

4Ekyo kyabaawo, eby’obutuukirivu mu mateeka biryoke bituukirire mu ffe bwe tugondera Omwoyo, ffe abatatambulira mu mubiri naye abatambulira mu Mwoyo.

5Abo abalowooleza mu mubiri balowooza bintu bya mubiri, naye abalowooleza mu Mwoyo balowooza bya Mwoyo.

6Okulowooleza mu by’omubiri kwe kufa, naye okufugibwa Omwoyo bwe bulamu n’emirembe.

7Kubanga okulowooza eby’omubiri kya bulabe eri Katonda. Ebirowoozo eby’omubiri tebiyinza kuwulira mateeka ga Katonda.

8N’abo abafugibwa omubiri tebayinza kusanyusa Katonda.

9Naye mmwe temufugibwa mubiri wabula mufugibwa Mwoyo, kubanga Omwoyo wa Katonda abeera mu mmwe. Era omuntu yenna bw’ataba na Mwoyo wa Kristo, oyo si wa Kristo.

10Era obanga Kristo ali mu mmwe, omubiri gwammwe mufu olw’ekibi, ate ng’omwoyo gwammwe mulamu olw’obutuukirivu.

11Era obanga Omwoyo w’oyo eyazuukiza Yesu okuva mu bafu abeera mu mmwe, oyo eyazuukiza Kristo mu bafu, alifuula emibiri gyammwe egifa okuba emiramu ku bw’Omwoyo we abeera mu mmwe.

12Noolwekyo abooluganda tulina ebbanja, so si eri omubiri okugondera bye gutulagira.

13Kubanga bwe munaagobereranga omubiri, mugenda kufa. Naye bwe munnatta ebikolwa eby’omubiri, muliba balamu,

14kubanga abo bonna abakulemberwa Omwoyo wa Katonda be baana ba Katonda.

15Temwaweebwa mwoyo gwa buddu ate mutye, wabula mwaweebwa Omwoyo eyabafuula abaana, era ku bw’oyo tumukoowoola nti, “Aba, Kitaffe.”

16Omwoyo yennyini akakasiza wamu n’omwoyo waffe nga bwe tuli abaana ba Katonda.

17Kale nga bwe tuli abaana, tuli basika ba Katonda, era tulisikira wamu ne Kristo, bwe tubonaabonera awamu naye, tulyoke tuweerwe wamu naye ekitiibwa.

18Okubonaabona kwe tubonaabona kaakano kutono nnyo bwe kugeraageranyizibwa n’ekitiibwa ekiritubikulirwa.

19Ebitonde birindirira n’essuubi lingi ekiseera abaana ba Katonda lwe baliragibwa.

20Kubanga ebitonde tebyafugibwa butaliimu nga byeyagalidde, wabula ku bw’oyo eyabifugisa, mu kusuubira.

21Ebitonde birifuulibwa bya ddembe okuva mu kufugibwa okuvunda ne bigabanira wamu n’abaana ba Katonda ekitiibwa eky’okuba mu ddembe.

22Tumanyi ng’ebitonde byonna bisinda era ne birumwa ng’omukazi alumwa okuzaala bw’abeera.

23Naye ate si ekyo kyokka, era naffe abalina ebibala ebibereberye eby’Omwoyo, naffe tusinda munda yaffe nga tulindirira okufuuka abaana, kwe kununulibwa kw’emibiri gyaffe.

24Twalokolebwa lwa ssuubi eryo. Naye essuubi erirabibwa si ssuubi; kubanga ani asuubira ky’alabako?

25Naye bwe tusuubira kye tutalabako, tukirindirira n’okugumiikiriza.

26N’Omwoyo bw’atyo atubeera mu bunafu bwaffe. Tetumanyi kusaba nga bwe kitugwanira, naye Omwoyo yennyini atwegayiririra n’okusinda okutayogerekeka.

27Oyo akebera emitima, amanyi Omwoyo ky’alowooza, kubanga yeegayiririra abatukuvu ng’okusiima kwa Katonda bwe kuli.

28Era tumanyi nga eri abo abaagala Katonda, era abo abayitibwa ng’okuteesa kwe bwe kuli, ebintu byonna bibatuukako olw’obulungi.

29Kubanga abo be yamanya olubereberye, yabalonda okufaananyizibwa mu kifaananyi ky’Omwana we, ye abeerenga omubereberye mu booluganda abangi.

30Abo be yalonda, n’okubayita yabayita, n’abo be yayita, yabawa obutuukirivu, n’abo be yawa obutuukirivu yabagulumiza.

31Kale tunaagamba ki ku bintu bino? Katonda bw’abeera ku lwaffe, ani asobola okutulwanyisa?

32Oyo ataasaasira Mwana we ye, naye n’amuwaayo ku lwaffe ffenna, talituwa buwi bintu byonna awamu naye?

33Ani aliroopa abalonde ba Katonda? Katonda y’awa obutuukirivu.

34Ani alibasalira omusango? Kristo Yesu yafa, kyokka okusinga byonna yazuukizibwa, era ali ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, ng’atwegayiririra.

35Ani alitwawukanya n’okwagala kwa Kristo? Kubonaabona, oba bulumi, oba kuyigganyizibwa, oba njala, oba kuba bwerere, oba kabi, oba kitala?

36Kyawandiikibwa nti:

37Naye mu bino byonna tuwangudde n’okukirawo ku bw’oyo eyatwagala.

38Kubanga nkakasiza ddala nga newaakubadde okufa, wadde obulamu, wadde bamalayika, wadde abafuzi, wadde ebiriwo, wadde ebigenda okujja, wadde amaanyi,

39wadde obugulumivu, wadde okukka wansi, wadde ekitonde ekirala kyonna, tewali kiriyinza kutwawukanya n’okwagala kwa Katonda okuli mu Kristo Yesu Mukama waffe.

← Abaruumi 7 Abaruumi Abaruumi 9 →

Abaruumi 8 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™