We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Abaruumi 7

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Abaruumi 6 Abaruumi Abaruumi 8 →

1Temumanyi abooluganda, kubanga njogera eri abamanyi amateeka, ng’amateeka gafuga oyo yekka akyali omulamu?

2Ka mbawe ekyokulabirako: mu mateeka omukazi omufumbo, asigala nga wa bba, bba bw’aba ng’akyali mulamu. Naye bba bw’afa, omukazi oyo ng’asumuluddwa mu tteeka eribagatta.

3Noolwekyo omukazi oyo bwe yeegatta n’omusajja omulala, bba ng’akyali mulamu, omukazi oyo anaayitibwanga mwenzi. Naye bba bw’afanga, olwo omukazi omufumbo anaabanga asumuluddwa mu tteeka, era taabenga mwenzi bw’anaafumbirwanga omusajja omulala.

4Nammwe baganda bange mwafa eri amateeka, muli ba mubiri gwa Kristo. Mwegatta ku Kristo eyazuukizibwa okuva mu bafu, tulyoke tubale ebibala ebisanyusa Katonda.

5Kubanga bwe twali tukyafugibwa omubiri, okwegomba kw’ebibi kwakoleranga mu bitundu byaffe eby’omubiri olw’amateeka, era enkomerero kwali kufa.

6Naye kaakano tetukyafugibwa mateeka. Tuli bafu eri ebyo ebyali bitusibye, era tebitulinaako buyinza. Noolwekyo tuyinza okuweereza Katonda mu ngeri empya eya Mwoyo Mutukuvu, so si mu nkola enkadde ey’amateeka.

7Kale tunaayogera ki? Amateeka kye kibi? Kikafuuwe. Singa tewaali mateeka, sanditegedde kibi. N’okwegomba kw’omubiri sandikutegeeredde ddala singa amateeka tegaagamba nti, “Teweegombanga.”

8Ekibi kyeyambisa etteeka lino, ne kindeetera okwegomba okwa buli ngeri. Noolwekyo awatali mateeka, ekibi kiba kifu.

9Edda nali mulamu awatali mateeka, naye etteeka bwe lyajja, ekibi ne kiramuka, n’okufa ne nfa.

10Era ne nkizuula ng’etteeka eryali liteekwa okumpa obulamu, lye lyandetera okufa.

11Ekibi kyeyambisa ekiragiro ekyo ne kinnimba, era ne kinzita.

12Noolwekyo amateeka matukuvu, era n’ekiragiro kitukuvu, kiruŋŋamya era kirungi.

13Kale ekirungi gye ndi, ate kye kyafuuka okufa? Nedda. Ekibi kye kyakozesa ekiragiro ekirungi kiryoke kinzite. Noolwekyo tulaba ekibi bwe kiri, ekibi ddala.

14Tumanyi ng’amateeka mwoyo, naye nze omuntu obuntu, natundibwa ng’omuddu nfugibwe ekibi.

15Kubanga kye nkola sikimanyi. Kye njagala si kye nkola, naye kye nkyawa kye nkola.

16Newaakubadde nga nkola kye mmanyi nga kikyamu, nzikiriza ng’amateeka malungi.

17Noolwekyo si nze nkola ebintu ebyo ebibi, wabula ekibi ekiri mu nze.

18Mmanyi nga mu nze, temuli kalungi n’akamu. Ne bwe njagala okukola ekirungi, tewali kirungi kye nkola.

19Ekirungi kye njagala okukola si kye nkola, naye ekibi kye saagala kye nkola.

20Naye obanga kye saagala kye nkola, si nze mba nkikola, wabula ekibi ekibeera mu nze.

21Noolwekyo nzudde mu mateeka nga bwe njagala okukola ebirungi, ekibi kimbeera kumpi.

22Mu nze mu muntu ow’omunda njagala nnyo okugondera amateeka ga Katonda.

23Naye mu mubiri gwange gwonna, ndaba amateeka ag’enjawulo nga gawakana n’etteeka lya Katonda amagezi gange ge limanyi. Ekyo kinfuula omusibe w’amateeka ag’ekibi, ekikolera mu mubiri gwange.

24Nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri guno ogugenda okufa?

25Kyokka Katonda yeebazibwe mu Yesu Kristo Mukama waffe.

← Abaruumi 6 Abaruumi Abaruumi 8 →

Abaruumi 7 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™