1Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’ettaano ogw’okufuga kwa Kayisaali Tiberiyo, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye gavana wa Buyudaaya, Kerode nga y’afuga Ggaliraaya, muganda we Firipo nga y’afuga Italiya ne Tirakoniti, ne Lusaniya nga y’afuga Abireene,
2Ana ne Kayaafa nga be Bakabona Abasinga Obukulu, Yokaana, mutabani wa Zaakaliya ng’ali mu ddungu, n’afuna obubaka obuva eri Katonda.
3Yokaana n’atambulanga ng’agenda abuulira mu bitundu ebyetoolodde Yoludaani, ng’ategeeza abantu obubaka obw’okubatizibwa obw’okwenenya olw’okusonyiyibwa ebibi,
4nga bwe kyawandiikibwa mu kitabo eky’ebigambo bya nnabbi Isaaya nti,
5Buli kiwonvu kirijjuzibwa,
6Abalina omubiri bonna baliraba obulokozi bwa Katonda.”
7Kyeyava agamba abantu abajjanga gy’ali okubatizibwa nti, “Mmwe abaana b’emisota, ani eyabalabula okudduka obusungu obugenda okujja?
8Kale mubale ebibala ebiraga nga mwenenyezza, so temwogera munda zammwe nti tulina jjajjaffe Ibulayimu. Kubanga mbagamba nti Katonda asobola, mu mayinja gano, okuggyiramu Ibulayimu abazzukulu.
9Ne kaakano embazzi eteekeddwa ku kikolo ky’emiti. Noolwekyo buli muti ogutabala bibala birungi gujja kutemebwawo gusuulibwe mu muliro.”
10Ekibiina ne kimumubuuza nti, “Kale tukole ki?”
11Yokaana n’abaddamu ng’agamba nti, “Alina ekkooti ebbiri, emu agigabire atalina, n’oyo alina emmere aweeko oyo atalina kyakulya.”
12Awo abasolooza b’omusolo nabo, ne bajja babatizibwe. Ne babuuza Yokaana nti, “Omuyigiriza tukole ki?”
13Yokaana n’abaddamu nti, “Temusoloozanga muwendo gusukka ku ogwo ogwalagibwa.”
14Abaserikale nabo ne babuuza Yokaana nti, “Ate ffe, tukole tutya?”
15Abantu baali balindirira nga basuubira, era nga buli muntu yeebuuza obanga Yokaana ye Kristo.
16Yokaana n’addamu bonna ng’agamba nti, “Nze mbabatiza na mazzi, naye waliwo ajja, alina obuyinza okunsinga, n’okusaanira sisaanira na kusumulula lukoba lwa ngatto ze. Oyo alibabatiza n’omuliro ne Mwoyo Mutukuvu;
17n’olugali luli mu mukono gwe okulongoosa egguuliro lye n’okukuŋŋaanyiza eŋŋaano mu tterekero lye, naye ebisusunku alibyokya n’omuliro ogutazikira.”
18Yokaana n’abuulirira abantu ebigambo bingi ebirala, nga bw’ababuulira Enjiri.
19Naye Yokaana bwe yanenya Kerode, omufuzi, olw’okutwala Kerodiya eyali muka muganda we, n’olw’ebibi ebirala Kerode bye yali akoze,
20ate ku ebyo byonna Kerode n’ayongerako na kino: n’akwata Yokaana n’amuggalira mu kkomera.
21Olunaku lumu, abantu bonna abaaliwo nga babatizibwa, ne Yesu n’abatizibwa. Yesu n’asaba, eggulu ne libikkuka,
22Mwoyo Mutukuvu n’amukkako mu kifaananyi eky’ejjiba. Eddoboozi ne liva mu ggulu ne ligamba nti, “Ggwe Mwana wange omwagalwa gwe nsanyukira ennyo.”
23Yesu yali awezezza emyaka ng’amakumi asatu bwe yatandika omulimu gwe. Yesu nga bwe kyalowoozebwa, yali mwana wa Yusufu:
24Eri nga mwana wa Mattati,
25ne Yusufu nga mwana wa Mattasiya, ne Mattasiya nga mwana wa Amosi,
26ne Naggayi nga mwana wa Maasi,
27ne Yoda nga mwana wa Yokanaani, ne Yokanaani nga mwana wa Lesa,
28ne Neeri nga mwana wa Mereki,
29ne Eri nga mwana wa Yoswa, ne Yoswa nga mwana wa Eryeza,
30ne Leevi nga mwana wa Simyoni, ne Simyoni nga mwana wa Yuda,
31ne Eriyakimu nga mwana wa Mereya, ne Mereya nga mwana wa Menna,
32ne Dawudi nga mwana wa Yese,
33ne Nakusoni nga mwana wa Amminadaabu, ne Aminadaabu nga mwana wa Aluni,
34ne Yuda nga mwana wa Yakobo,
35ne Nakoli nga mwana wa Serugi, ne Serugi nga mwana wa Lewu,
36ne Sera nga mwana wa Kayinaani,
37ne Lameka nga mwana wa Mesuseera, ne Mesuseera nga mwana wa Enoki,
38ne Kayinaani nga mwana wa Enosi,