We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Yoswa 12

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Yoswa 11 Yoswa Yoswa 13 →

1Bano be bakabaka b’ensi Abayisirayiri be baawangula era bannyini nsi Abayisirayiri gye baatwala eri ebuvanjuba bwa Yoludaani, okuva ku kiwonvu ekya Alunoni okutuuka ku lusozi Kerumooni, ne Alaba yonna ku luuyi olw’ebuvanjuba.

2Sikoni kabaka w’Abamoli eyafuga mu Kesuboni, okuva ku Aloweri, ekiri ku mabbali g’ekiwonvu ekya Alunoni, n’ekibuga ekiri wakati mu kiwonvu, n’ekitundu ekya Gireyaadi, okutuuka ku mugga Yaboki, y’ensalo y’abaana ba Amoni; kino ng’ogasseeko n’ekitundu Gireyaadi,

3ne Alaba okutuuka ku nnyanja Kinnerosi, ku luuyi olw’ebuvanjuba, ne ku Nnyanja ya Araba y’Ennyanja ey’Omunnyo ku luuyi olw’ebuvanjuba mu kkubo ery’e Besu Yesimosi, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo wansi w’olusozi Pisuga,

4ne ku nsalo ya Ogi kabaka w’e Basani, omu ku baasembayo ku ba Balefa eyafuganga mu Asutaloosi ne mu Ederei.

5Era ye yali afuga olusozi Kerumooni ne Saleka ne Basani yenna okutuuka ku nsalo ey’Abagesuli, n’Abamaakasi, n’ekitundu kya Gireyaali, ensalo ya Sikoni kabaka we Kesuboni.

6Musa omuweereza wa Mukama n’abaana ba Isirayiri babawangula, era ensi yaabwe Musa omuweereza wa Mukama n’agiwa Abalewubeeni, n’Abagaadi n’ekitundu ky’ekika kya Manase.

7Bano be bakabaka b’ensi, Yoswa n’abaana ba Isirayiri be baawangula ku luuyi lw’ebugwanjuba olwa Yoludaani okuva ku Baalugadi mu kiwonvu kya Lebanooni okutuuka ku lusozi Kalaki okwambuka okutuuka e Seyiri. Yoswa yagiwa ebika bya Isirayiri bigigabane nga bwe byali byayawulwamu.

8Mu nsi ey’ensozi, ne mu nsi ey’ensenyi ne mu Alaba ne ku bitundu ebya wansi ku nsozi, ne mu ddungu ne mu nsi ey’obugwanjuba mu Negevu, ensi ez’Abakiiti, n’Abamoli, n’Abakanani, n’Abaperezi, n’Omukiivi, n’Omuyebusi.

9Kabaka w’e Yeriko

10ne kabaka w’e Yerusaalemi

11ne kabaka w’e Yalamusi

12n’ow’e Egulooni

13ne kabaka w’e Debiri

14n’ow’e Koluma

15n’ow’e Libuna

16n’ow’e Makkeda

17ne kabaka ow’e Tappua

18n’ow’e Afeki omu n’ow’e Lasaloni

19n’ow’e Madoni

20ne kabaka w’e Simuloni Meroni

21n’ow’e Taanaki

22n’ow’e Kedesi

23ne kabaka w’e Doli ku lusozi Doli

24n’ow’e Tiruza

← Yoswa 11 Yoswa Yoswa 13 →

Yoswa 12 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™