1“Mu kiseera ekyo, bw’ayogera Mukama, amagumba ga bakabaka ba Yuda, n’amagumba g’abalangira, n’amagumba ga bakabona, n’amagumba ga bannabbi, n’amagumba g’abatuuze b’omu Yerusaalemi galiggyibwa mu ntaana zaago.
2Kale galyanikibwa mu musana, eri omwezi n’emmunyeenye ez’omu ggulu, ze baayagala era ne baaweereza era ze baagoberera ne beebuuzaako ne basinza. Tebalikuŋŋaanyizibwa wadde okuziikibwa naye balibeera ng’ebisasiro wansi ku ttaka.
3N’abantu b’ensi eno ennyonoonyi bw’etyo abalisigalawo, be ndiba nsasaanyizza mu mawanga, balyegomba okufa okusinga okuba abalamu,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
4“Bategeeze nti, Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
5Kale lwaki abantu bange bano
6Nawuliriza n’obwegendereza
7Ebinyonyi ebibuukira mu bbanga
8Muyinza mutya okwogera nti,
9Abagezigezi baliswala ne bakeŋŋentererwa
10Noolwekyo bakazi baabwe
11Ebiwundu by’abantu bange babijjanjaba nga tebafaayo,
12Baakwatibwa ensonyi bwe baakola ebivve?
13“Ndimalirawo ddala amakungula gaabwe,”
14Kiki ekitutuuzizza wano obutuuza?
15Twasuubira mirembe
16Okukaaba kw’embalaasi z’omulabe kuwulirwa mu Ddaani;
17“Laba, ndikusindikira emisota egy’obusagwa,
18Nnina ennaku etewonyezeka,
19Wuliriza okukaaba kw’abantu bange
20“Amakungula gayise,
21Nnumiziddwa olw’okulumizibwa kwa muwala wange.
22Teri ddagala mu Gireyaadi?