1Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,
2Ndituma abagwira e Babulooni
3Omulasi talikuba busaale bwe,
4Baligwa nga battiddwa e Babulooni,
5Kubanga Yuda ne Isirayiri tebinnalekebwa
6“Mudduke Babulooni.
7Babulooni yali kikompe kya zaabu mu mukono gwa Mukama;
8Babulooni kirigwa mangu ago ne kimenyekamenyeka.
9“ ‘Twandiwonyezza Babulooni,
10“ ‘Mukama atulwaniridde,
11“Muwagale obusaale,
12Muyimuse bendera mwolekere bbugwe wa Babulooni!
13Gwe abeera okumpi n’amazzi amangi,
14Mukama Katonda ow’Eggye yeerayiridde ku lulwe;
15“Ensi yagikola n’amaanyi ge;
16Bw’abwatuka, amazzi ag’omu ggulu gawuluguma;
17“Buli muntu talina magezi wadde okutegeera;
18Tebiriiko kye bigasa, ebisaanye okunyoomebwa
19Oyo omugabo gwa Yakobo tali nga bano,
20“Muli mbazzi yange,
21era ggwe gwe ndikozesa okubetenta embalaasi n’omwebagazi,
22era ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusajja n’omukazi,
23Ggwe gwe ndikozesa okubetenta omusumba n’ekisibo kye,
24“Ndisasula Babulooni ne bonna ababeeramu nga mulaba olw’ebibi byonna bye baakola mu Sayuuni,” bw’ayogera Mukama.
25“Mbalinako ensonga, ggwe olusozi oluzikiriza,
26Tewali jjinja lirikuggibwako kukola jjinja lya ku nsonda,
27“Yimusa bendera mu ggwanga!
28Teekateeka amawanga okumulwanyisa;
29Ensi ekankana ne yeenyola olw’obulumi,
30Abalwanyi ba Babulooni balekedde awo okulwana;
31Matalisi omu agoberera omulala,
32entindo z’emigga baziwambye,
33Bw’ati bw’ayogera Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri nti,
34“Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni atukubyekubye,
35Leka okubonaabona okututuuseeko kubeere ku Babulooni,”
36Mukama kyava ayogera nti,
37Babulooni kirifuuka bifunvu,
38Abantu baakyo bonna bawuluguma ng’empologoma ento,
39Naye nga bakyabuguumirira,
40“Ndibaserengesa
41“Sesaki nga kiriwambibwa,
42Ennyanja eribuutikira Babulooni;
43Ebibuga bye birisigala matongo,
44Ndibonereza Beri mu Babulooni,
45“Mukiveemu, abantu bange!
46Temutya wadde okuggwaamu amaanyi
47Kubanga ekiseera kijja
48Eggulu n’ensi ne byonna ebibirimu
49“Babulooni kirigwa olw’Abayisirayiri abaafa,
50Mmwe abawonye ekitala,
51“Tuweddemu amaanyi
52“Naye ennaku zijja,” bw’ayogera Mukama,
53Newaakubadde nga Babulooni atuuka ku bire
54“Eddoboozi ly’okukaaba liva mu Babulooni,
55Mukama alizikiriza Babulooni,
56Omuzikiriza alirumba Babulooni;
57Nditamiiza abakungu be n’abasajja be abajjudde amagezi,
58Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
59Buno bwe bubaka Yeremiya bwe yawa omukungu Seraya mutabani wa Neriya, mutabani wa Maseya, bwe yagenda e Babulooni ne Zeddekiya kabaka wa Yuda, nga Zeddekiya afuga mu mwaka gwe ogwokuna. Seraya ye yali omu ku bakungu abakulu.
60Yeremiya yali awandiise mu muzingo ebikangabwa byonna ebyali bigenda okutuuka ku Babulooni, byonna ebyali biwandiikiddwa ebyali bikwata ku Babulooni.
61Yagamba Seraya nti, “Bw’otuuka mu Babulooni, laba ng’osoma mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino byonna.
62Olwo ogambe nti, ‘Ayi Mukama, ogambye nti olizikiriza ekifo kino, nti tewali nsolo oba muntu alikibeeramu; kibeere matongo emirembe gyonna.’
63Bw’omalanga okusoma omuzingo guno gusibeeko ejjinja ogukanyuge mu mugga Fulaati.
64Olyoke ogambe nti, ‘Bw’ati Babulooni bwalisaanawo aleme kubbulukuka olw’akabi ke ndimuleetako. N’abantu be balizikirira.’ ”