1“Dduka ogende eno n’eri mu nguudo za Yerusaalemi,
2Ne bwe boogera nti, ‘Nga Mukama bwali omulamu;’
3Ayi Mukama Katonda, amaaso go teganoonya mazima?
4Ne njogera nti,
5Kale ndigenda eri abakulembeze
6Noolwekyo empologoma eriva mu kibira n’ebalya,
7“Mbasonyiwe ntya?
8Baali ng’embalaasi ennume ezikkuse ezitaamye,
9Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?
10“Yita mu nnimiro z’emizabbibu gyabwe ogyonooneyonoone,
11Kubanga ennyumba ya Isirayiri n’ennyumba ya Yuda
12Boogedde eby’obulimba ku Mukama ne bagamba nti,
13Bannabbi mpewo buwewo
14Noolwekyo bw’ati bw’ayogera Mukama, Katonda ow’Eggye nti,
15Laba, mbaleetera eggwanga eriva ewala,
16omufuko gwabwe ogw’obusaale guli ng’entaana eyasaamiridde,
17Balirya amakungula gammwe n’emmere yammwe;
18Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, “Naye ne mu nnaku ezo sigenda kubazikiririza ddala kubamalawo.
19Era abantu bammwe bwe bagamba nti, ‘Lwaki Katonda waffe atukoze ebintu bino byonna?’ Onoobagamba nti, ‘Nga bwe mwanvaako ne muweereza bakatonda abalala mu nsi yammwe, mujja kuweereza bakatonda abagwira mu nsi eteri yammwe.’
20“Langirira kino mu nnyumba ya Yakobo,
21Wulira kino, mmwe abantu abasirusiru abatalina kutegeera,
22Temuntya?” bw’ayogera Mukama;
23Naye abantu bano balina omutima omwewagguze era omujeemu.
24Abateekuba mu kifuba kugamba nti, ‘Tutye Mukama Katonda waffe agaba enkuba,
25Obutali butuukirivu bwammwe bubibakwese
26“Kubanga abasajja abakozi b’ebibi basangibwa mu bantu bange;
27Ng’ebisero ebijjudde ebinyonyi,
28Ekibi kyabwe tekiriiko kkomo, tebasala misango mu bwenkanya,
29Lwaki sibabonereza olw’ebintu ebyo?”
30“Ekigambo eky’ekitalo
31Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba,