We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Yokaana 20

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Yokaana 19 Yokaana Yokaana 21 →

1Mu makya g’olunaku olusooka mu wiiki, Maliyamu Magudaleene n’ajja ku ntaana, ng’obudde tebunnalaba bulungi, n’alaba ejjinja nga liggiddwa ku ntaana.

2N’adduka n’agenda eri Simooni Peetero n’eri omuyigirizwa omulala Yesu gwe yayagalanga ennyo n’abagamba nti, “Mukama waffe bamuggyeemu mu ntaana, era simanyi gye bamutadde!”

3Awo Peetero n’omuyigirizwa oli omulala ne bafuluma ne balaga ku ntaana.

4Bombi ne bagenda nga badduka, omuyigirizwa oli omulala n’ayisa Peetero n’amusooka ku ntaana.

5N’akutama n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo, kyokka n’atayingira mu ntaana.

6Awo ne Simooni Peetero n’atuuka, n’ayingira mu ntaana, n’alaba engoye za linena nga ziteekeddwa awo.

7N’alaba n’ekitambaala ekyali ku mutwe gwa Yesu. Kyali tekiteekeddwa wamu na ngoye, wabula kyali kizingiddwa era nga kiteekebbwa ku bbali.

8N’omuyigirizwa oli omulala, eyasooka okutuuka ku ntaana n’ayingira. N’alaba era n’akkiriza.

9Kubanga okutuusiza ddala mu kiseera ekyo baali tebannategeera ekyawandiikibwa nti: Kimugwanira okuzuukira mu bafu.

10Awo abayigirizwa ne baddayo ewaabwe eka.

11Maliyamu Magudaleene yali ayimiridde wabweru w’entaana ng’akaaba. N’akutama. N’alingiza mu ntaana nga bw’akaaba,

12n’alaba bamalayika babiri, nga bali mu ngoye enjeru nga batudde; omu emitwetwe n’omulala emirannamiro w’ekifo omulambo gwa Yesu we gwali guteekeddwa.

13Bamalayika ne bamubuuza nti, “Omukyala, okaabira ki?”

14Bwe yamala okwogera ebyo, n’akyuka n’alaba Yesu ng’ayimiridde, kyokka n’atamanya nti ye Yesu.

15Yesu n’amubuuza nti, “Omukyala okaabira ki? Onoonya ani?”

16Yesu n’amugamba nti, “Maliyamu!”

17Yesu n’amugamba nti, “Tonkwatako kubanga sinnagenda eri Kitange. Naye genda eri baganda bange obagambe nti, ŋŋenda eri Kitange era Kitammwe, Katonda wange era Katonda wammwe.”

18Maliyamu Magudaleene n’agenda n’abuulira abayigirizwa nga bw’alabye Mukama waffe, era n’abategeeza by’amugambye.

19Akawungeezi ako abayigirizwa baali bakuŋŋaanidde mu kisenge ng’enzigi nsibe olw’okutya Abayudaaya, Yesu n’ajja n’ayimirira wakati mu bo. N’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe.”

20Bwe yamala okwogera ebyo n’abalaga ebibatu bye n’embiriizi ze. Abayigirizwa bwe baalaba Mukama ne basanyuka nnyo.

21N’addamu nti, “Emirembe gibe mu mmwe. Nga Kitange bwe yantuma, nange bwe mbatuma mmwe.”

22Bwe yamala okwogera ebyo n’abassiza omukka, n’abagamba nti, “Mufune Mwoyo Mutukuvu.

23Buli muntu gwe munaasonyiwanga ebibi bye anaabanga asonyiyiddwa. Abo be munaagaananga okusonyiwa, banaabanga tebasonyiyiddwa.”

24Naye Tomasi, omu ku bayigirizwa ekkumi n’ababiri, ayitibwa Didumo, teyali na banne Yesu bwe yajja.

25Bayigirizwa banne ne bamugamba nti, “Tulabye Mukama waffe.”

26Bwe waayitawo ennaku munaana, abayigirizwa ba Yesu, era bali mu nnyumba, Tomasi yali nabo. Yesu n’ajja, enzigi nga nsibe, n’ayimirira wakati mu bo n’abagamba nti, “Emirembe gibe mu mmwe,”

27Awo n’agamba Tomasi nti, “Kale teeka engalo zo wano, laba ebibatu byange. Teeka ekibatu kyo mu mbiriizi zange. Lekeraawo okuba atakkiriza, naye kkiriza.”

28Tomasi n’amuddamu nti, “Ggwe Mukama wange era Katonda wange.”

29Yesu n’amugamba nti, “Okkirizza kubanga ondabye. Balina omukisa abakkiriza nga tebaliiko kye balabye.”

30Yesu yakola ebyamagero ebirala bingi ng’abayigirizwa be balaba, ebitaawandiikibwa mu kitabo kino.

31Naye bino byawandiikibwa mulyoke mukkirize nti Yesu ye Kristo Omwana wa Katonda era olw’okumukkiriza mulyoke mube n’obulamu mu linnya lye.

← Yokaana 19 Yokaana Yokaana 21 →

Yokaana 20 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™