We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Yokaana 19

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Yokaana 18 Yokaana Yokaana 20 →

1Awo Piraato n’atwala Yesu n’amukuba embooko.

2Abaserikale ne bakola engule ey’amaggwa ne bagissa ku mutwe gwa Yesu, ne bamwambaza olugoye olwa kakobe,

3ne bajja w’ali ne bamugamba nti, “Mirembe, Kabaka w’Abayudaaya!” Ne bamukuba empi.

4Piraato n’afuluma ebweru nate, n’agamba Abayudaaya nti, “Laba, mbaleetera Yesu ebweru, kyokka mutegeere nga nze ndaba taliiko musango.”

5Awo Yesu n’afuluma ng’atikkiddwa engule eyakolebwa mu maggwa, era ng’ayambaziddwa olugoye olw’effulungu, Piraato n’agamba Abayudaaya nti, “Mulabe omuntu oyo!”

6Awo bakabona abakulu n’abaweereza bwe baamulaba, ne baleekaana nti, “Mukomerere, mukomerere!”

7Abayudaaya ne bamuddamu nti, “Ffe tulina etteeka, era okusinziira ku tteeka eryo asaanidde kuttibwa, kubanga yeeyita Omwana wa Katonda.”

8Piraato bwe yawulira ekyo ne yeeyongera okutya.

9N’azzaayo Yesu mu lubiri, n’amubuuza nti, “Oli wa wa?” Yesu n’atamuddamu kigambo.

10Piraato n’amugamba nti, “Tonziramu? Tomanyi nga nnina obuyinza okukuta oba okukukomerera?”

11Yesu n’amuddamu nti, “Tewandibadde na buyinza ku Nze n’akatono, singa tebukuweebwa kuva waggulu. Noolwekyo abo abampaddeyo gy’oli be balina ekibi ekisinga.”

12Okuva mu kiseera ekyo Piraato n’asala amagezi okuta Yesu. Naye Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Bw’ota omuntu oyo nga tokyali mukwano gwa Kayisaali. Buli eyeefuula kabaka aba awakanya Kayisaali.”

13Bwe baayogera batyo Piraato n’azza Yesu ebweru gye bali, n’atuula ku ntebe esalirwako emisango, mu kifo ekiyitibwa Amayinja Amaaliire, mu Lwebbulaniya Gabbasa.

14Lwali lunaku lwa kutegeka Mbaga ejjuukirirwako Okuyitako. Essaawa zaali nga mukaaga ez’omu ttuntu.

15Abayudaaya ne baleekaana nga bagamba nti, “Mukomerere, mukomerere!”

16Piraato n’abawa Yesu okumukomerera.

17n’afuluma nga yeetisse omusaalaba gwe, n’atuuka mu kifo ekiyitibwa eky’Ekiwanga, mu Lwebbulaniya kiyitibwa Gologoosa.

18Ne bamukomerera ku musaalaba mu kifo ekyo. Era ne bakomerera n’abalala babiri, omu eruuyi n’omulala eruuyi, Yesu n’abeera wakati waabwe.

19Piraato n’akola ekiwandiiko n’akiteeka ku musaalaba, nga kisoma nti:

20Ekifo kye baakomereramu Yesu kyali kumpi n’ekibuga, era Abayudaaya bangi abaasoma ekiwandiiko ekyo kubanga kyali mu Lwebbulaniya, ne mu Lulatini ne Luyonaani.

21Awo bakabona abakulu ab’Abayudaaya ne bagamba Piraato nti, “Towandiika nti, ‘Kabaka w’Abayudaaya,’ naye nti, ‘Oyo eyeeyita Kabaka w’Abayudaaya.’ ”

22Piraato n’addamu nti, “Ekyo kye mpandiise kye mpandiise.”

23Abaserikale bwe baamala okukomerera Yesu, ne baddira engoye ze ne baziteeka emiteeko ena. Buli muserikale n’afuna omuteeko gumu. Ne baddira ekkanzu ye, eyali erukiddwa obulukibwa yonna,

24abaserikale ne bagambagana nti, “Tuleme kugiyuzaamu naye tugikubire kalulu, tulabe anaagitwala.”

25Okumpi n’omusaalaba gwa Yesu waali wayimiriddewo nnyina, ne muganda wa nnyina, ne Maliyamu muka Kuloopa, ne Maliyamu Magudaleene.

26Yesu bwe yalaba nnyina, era n’omuyigirizwa Yesu gwe yayagalanga ennyo ng’ayimiridde awo, n’agamba nnyina nti, “Maama, laba omwana wo.”

27Ate n’agamba omuyigirizwa nti, “Laba maama wo.” Okuva olwo omuyigirizwa oyo n’atwala nnyina Yesu eka ewuwe.

28Yesu bwe yamanya nga byonna biwedde, ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire, n’ayogera nti, “Ennyonta ennuma.”

29Waali wateekeddwawo ekibya ekijjudde wayini omukaatuufu, ne bannyikamu ekyangwe, ne bakiteeka ku kati ka ezobu ne bakiteeka ku mumwa gwa Yesu.

30Bwe yakombako n’agamba nti, “Kiwedde.” N’akutamya omutwe gwe n’awaayo obulamu bwe.

31Olunaku nga bwe lwali olw’okweteekerateekera Ssabbiiti eyo enkulu ennyo, abakulembeze b’Abayudaaya ne batayagala mirambo kusigala ku misaalaba. Kyebaava basaba Piraato abaakomererwa bamenyebwe amagulu era bawanulweyo.

32Awo abaserikale ne bajja ne bamenya amagulu g’abasajja abaakomererwa ne Yesu.

33Naye bwe batuuka ku Yesu ne balaba nga yafudde dda, ne batamumenya magulu.

34Naye omu ku baserikale n’amufumita effumu mu mbiriizi, amangwago ne muvaamu omusaayi n’amazzi.

35Oyo eyakirabira ddala nga kibaawo ye yakyogera, era kye yayogera kya mazima, era oyo amanyi ng’ayogera mazima mulyoke mukkirize.

36Bino byabaawo ekyawandiikibwa kiryoke kituukirire ekigamba nti: “Talimenyebwa gumba na limu.”

37Era ekyawandiikibwa ekirala kigamba nti, “Balimulaba oyo gwe baafumita.”

38Ebyo bwe byaggwa, Yusufu ow’e Alimasaya, eyali omuyigirizwa wa Yesu mu kyama olw’okutya Abayudaaya, n’asaba Piraato olukusa okuwanulayo omulambo gwa Yesu, Piraato n’amukkiriza. Yusufu n’aguwanulayo n’agutwala.

39Nikodemo, eddako eyagenda eri Yesu ekiro, naye n’ajja ng’aleese kilo ng’amakumi ataano ez’ebyakoloosa ebitabule n’envumbo.

40Ne batwala omulambo gwa Yesu, ne baguzinga mu ngoye eza linena wamu n’ebyakaloosa ng’empisa y’Abayudaaya ey’okuziika bwe yali.

41Mu kifo Yesu we yakomererwa waaliwo ennimiro omwali entaana empya ey’empuku, eyali teziikibwangamu muntu.

42Nga bwe lwali olunaku lw’Abayudaaya olw’okweteekerateekera Ssabbiiti ate ng’entaana eno eri kumpi, Yesu ne bamussa omwo.

← Yokaana 18 Yokaana Yokaana 20 →

Yokaana 19 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™