1“Ddala ddala waliwo ebirombe mwe basima effeeza,
2Ekyuma kisimibwa mu ttaka,
3Omuntu agoberera enzikiza n’anoonya eyo mu ttaka wansi,
4Asima ekinnya ekiri ewala n’abantu gye babeera,
5Ensi evaamu emmere,
6Safira eva mu mayinja gaayo,
7Tewali kinyonyi kiyizzi kimanyi kkubo lino,
8Ekibinja ky’empologoma ento tekituukangayo,
9Omuntu ayasa n’omukono gwe ejjinja ery’embaalebaale,
10Asima ensalosalo ku njazi;
11Anoonya wansi mu migga,
12“Naye amagezi gasangibwa wa?
13Omuntu tayinza kutegeera mugaso gwago;
14Obuziba bwogera nti, ‘Tegali mu nze,’
15Tegayinza kugulibwa na zaabu asingayo obulungi,
16Tegayinza kugulibwa na zaabu wa Ofiri,
17Zaabu n’endabirwamu tebiyinza kugenkana:
18Kolali n’amayinja ag’endabirwamu tebyogerwa nako;
19Topazi eva mu Esiyopya teyinza kugenkana,
20“Kale amagezi gava ludda wa?
21Gakwekebwa okuva mu maaso g’ebintu byonna ebiramu,
22Okuzikiriza n’Okufa kwogera nti,
23Katonda ategeera ekkubo erigatuukako
24kubanga alaba enkomerero y’ensi
25Bwe yateekawo amaanyi g’empewo,
26bwe yateekera enkuba etteeka
27olwo n’atunuulira amagezi n’agalangirira;
28N’agamba omuntu nti,