1Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Kwata ekipande ekinene okiwandiikeko n’ekkalaamu nti: Kya Makerusalalukasubazi.”
2Ne ndyoka neeyitira abajulirwa abeesigwa, Uliya kabona, ne Zekkaliya omwana wa Yeberekiya.
3Ne ŋŋenda eri nnabbi omukazi, n’aba olubuto, n’azaala omwana wabulenzi. Mukama Katonda n’alyoka agamba nti, “Mmutuume erinnya Makerusalalukasubazi.
4Kubanga omwana nga tannamanya kugamba nti, ‘Taata’, oba ‘Maama’, obugagga bw’e Ddamasiko n’omunyago gwe Samaliya birinyagibwa kabaka w’e Bwasuli.”
5Mukama Katonda n’addamu n’ayogera nange nti,
6“Kubanga abantu bano bagaanye
7kale nno Mukama anaatera okubaleetako
8Era galyeyongera ne ganjaala mu Yuda,
9Muyimbe ennyimba z’entalo mmwe amawanga naye mwekaabire.
10Muteese enkola yammwe, naye yakugwa butaka,
11Kubanga Mukama Katonda yayogera nange ng’antaddeko omukono gwe ogw’amaanyi, ng’andabula nneme okugoberera ekkubo ly’abantu bano, ng’aŋŋamba nti,
12“Ebintu byonna abantu bano bye bayita enkwe,
13Naye mujjukire nti nze Mukama Katonda ow’Eggye, nze Mutukuvu,
14Olw’obutukuvu eri ennyumba zombi eza Isirayiri
15Era bangi abaliryesittalako,
16Nyweza obujulirwa
17Nange nnaalindirira Mukama Katonda
18Laba, nze n’abaana Mukama Katonda bampadde tuli bubonero n’ebyewuunyo mu Isirayiri obuva eri Mukama Katonda ow’Eggye, abeera ku lusozi Sayuuni.
19Abantu bwe babagamba nti mwebuuze ku abo abaliko emizimu, n’abasamize abakaaba ng’ennyonyi era abajoboja, eggwanga tekirigwanira kwebuuza ku Katonda waalyo? Lwaki ebikwata ku balamu mubibuuza abafu?
20Tudde eri amateeka n’obujulirwa! Bwe baba teboogera bwe batyo, mazima obudde tebugenda kubakeerera.
21Era baliyita mu nsi nga beeraliikirira nnyo nga balumwa enjala; era enjala bweriyitirira okubaluma ne banyiiga era nga batunudde waggulu balikolimira kabaka ne Katonda waabwe.
22Era bwe balitunula ku nsi baliraba nnaku na kizikiza, n’entiisa ey’okubonaabona basuulibwe mu kizikiza ekikutte zigizigi.