We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Isaaya 7

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Isaaya 6 Isaaya Isaaya 8 →

1Awo olwatuuka mu mirembe gya Akazi omwana wa Yosamu, omwana wa Uzziya, kabaka wa Yuda, Lezini kabaka w’e Busuuli, ne Peka omwana wa Lemaliya, kabaka wa Isirayiri ne bambuka okulwanyisa Yerusaalemi naye ne balemererwa.7:1 Mu mwaka 735 bc, Isirayiri ne Busuuli batta omukago balwanyise Bwasuli, ne bagezaako okusendasenda Akazi kabaka wa Yuda abeegatteko

2Amawulire bwe gatuuka eri Kabaka wa Yuda nti, “Obusuuli bwegasse ne Efulayimu okubalumba”; omutima gwe n’egy’abantu ba Yuda bonna ne gikankana, ne giba ng’emiti egy’omu kibira eginyeenyezebwa embuyaga.

3Mukama Katonda n’alyoka agamba Isaaya nti, “Fuluma kaakano osisinkane Akazi, ggwe ne mutabani wo Seyalusayubu, olusalosalo olw’ekidiba ekyengulu we lukoma, mu luguudo olw’Ennimiro y’Omwozi w’Engoye,

4omugambe nti, ‘Weegendereze, beera mukkakkamu toba na kutya omutima gwo teguggwaamu maanyi olw’emimuli gino eginyooka egiggweeredde, olw’obusungu bwa Lezini, n’obwa Obusuuli n’obw’omwana wa Lemaliya obubuubuuka.’

5Kubanga Obusuuli ne Efulayimu ne mutabani wa Lemaliya bateesezza okukuleetako obulabe nga boogera nti,

6‘Ka twambuke tulumbe Yuda, tukiyuzeeyuze tukyegabanye, tufuule omwana wa Tabeeri okuba kabaka waakyo.’

7Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,

8Kubanga Damasiko ge maanyi ga Busuuli

9Ne Samaliya ge maanyi ga Efulayimu,

10Mukama Katonda n’addamu n’agamba Akazi nti,

11“Saba Mukama Katonda wo akabonero, ne bwe kanaaba mu buziba, oba mu magombe oba mu bwengula.”

12Naye Akazi n’agamba nti, “Sijja kusaba kabonero, sijja kugezesa Mukama Katonda.”

13Isaaya n’ayogera nti, “Muwulire mmwe kaakano, mmwe ennyumba ya Dawudi! Okugezesa abantu tekibamala? Ne Katonda munaamugezesa?

14Noolwekyo Mukama yennyini kyaliva abawa akabonero; laba omuwala atamanyi musajja alizaala omwana wabulenzi era alituumibwa erinnya Emmanweri.

15Bw’alituuka okwawula ekirungi n’ekibi aliba alya muzigo na mubisi gwa njuki.

16Kubanga ng’omwana bw’aba nga tannamanya kugaana kibi n’alondawo ekirungi, ensi eza bakabaka ababiri bootya erisigala matongo.

17Mukama Katonda alikuleetako ne ku bantu bo ne ku nnyumba ya kitaawo ennaku ezitabangawo bukyanga Efulayimu eva ku Yuda; agenda kuleeta kabaka w’e Bwasuli.”

18Olunaku olwo nga lutuuse, Mukama Katonda alikoowoola ensowera eri mu bifo eby’ewala eby’emigga egy’e Misiri, n’enjuki eri mu nsi y’e Bwasuli.

19Era byonna birijja bituule mu biwonvu ebyazika, ne mu njatika z’omu mayinja, ku maggwa, ne ku malundiro gonna.

20Ku lunaku luli Mukama alimwesa akawembe akapangisiddwa emitala w’emigga, ye kabaka w’e Bwasuli, kammwe omutwe, n’obwoya bw’oku magulu, kasalireko ddala n’ekirevu.

21Newaakubadde mu nnaku ezo, ng’omuntu alisigaza ente emu yokka n’endiga bbiri,

22naye olw’obungi bw’amata agabivaamu, alirya ku muzigo. Kubanga buli alisigalawo mu nsi alirya muzigo na mubisi gwa njuki.

23Era ng’olunaku lutuuse, buli kifo awaabanga emizabbibu, ng’olukumi lubalibwamu kilo kkumi n’emu n’ekitundu, kiriba kisigaddemu myeramannyo n’amaggwa.

24Abantu baligendayo na busaale na mitego, kubanga ensi yonna eriba efuuse myeramannyo na maggwa.

25N’ensozi zonna ze baalimanga n’enkumbi nga tezikyatuukikako olw’okutya emyeramannyo n’amaggwa, era kirifuuka ekifo ente n’endiga we byerundira.

← Isaaya 6 Isaaya Isaaya 8 →

Isaaya 7 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™