1Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda,
2Ebintu bino byonna emikono gyange si gye gyagikola,
3Naye asaddaaka ente aba ng’asse omuntu,
4Nange ndisalawo mbatuuseeko ekibambulira,
5Muwulirize ekigambo kya Mukama Katonda
6Muwulirize.
7“Ekibuga kyange ekitukuvu
8Ani eyali awulidde ekintu bwe kityo?
9Nnyinza okutuusa abantu bange ku kuzaalibwa
10“Mujagulize wamu ne Yerusaalemi
11Kubanga muliyonka
12Kubanga bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda nti,
13Ng’omwana bw’asanyusibwa nnyina,
14Kino bw’olikiraba omutima gwo gulisanyuka,
15“Kubanga laba Mukama Katonda alijjira mu muliro,
16Omuliro n’ekitala
17“Abo abeetukuza balyoke balage mu nnimiro entukuvu okukola eby’emizizo, abatambulira mu nnyiriri nga bwe balya embizzi, omusonso n’emmere ey’omuzizo, bonna balizikirira wamu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
18“Olw’ebyo bye bakola ne bye balowooza, nnaatera okujja nkuŋŋaanye amawanga gonna n’ennimi zonna, era balijja balabe ekitiibwa kyange.
19“Nditeeka akabonero mu bo. Ndiwonyaako abamu mbasindike mu mawanga, e Talusiisi, e Puuli66:19 Puuli ne Puuti bye bimu. Puuti ye Libiya oba ekitundu ekyetoolodde n’okutuukira ddala ku Somaliya, n’e Luudi, abaleega omutego, eri Tubali ne Yavani,66:19 Yavani ye Buyonaani mu bizinga eby’ewala, abatawuliranga ttutumu lyange, wadde okulaba ekitiibwa kyange.
20Balikomyawo baganda bammwe bonna okuva mu mawanga nga ekirabo gye ndi. Balibaleetera ku mbalaasi, ne mu magaali ge mbalaasi n’ebigaali ne ku nnyumbu n’eŋŋamira ku lusozi lwange olutukuvu nga Isirayiri bwe baleeta ebiweebwayo ebirongoofu mu nnyumba ya Mukama Katonda.
21Era ndifuula abamu ku bo okubeera bakabona n’abaleevi,” bw’ayogera Mukama Katonda.
22“Kubanga nga eggulu eppya n’ensi empya, bye ndikola bwe biribeerawo olw’amaanyi gange, bw’ayogera Mukama Katonda, bwe lityo ezzadde lyammwe n’erinnya lyammwe bwe birisigala.
23Okuva ku mwezi okutuuka ku mwezi, n’okuva ku ssabbiiti okutuuka ku ssabbiiti, bonna abalina omubiri banajjanga okusinziza mu maaso gange,” bw’ayogera Mukama Katonda.
24“Kale bwe baliba bafuluma, baliraba emirambo gy’abasajja abanneewaggulako; kubanga envunyu zaabwe tezirifa, so n’omuliro gwabwe tegulizikizibwa; era baliba kyennyinnyalwa eri abantu bonna.”