1Zikusanze ggwe omuzikiriza
2Ayi Mukama tusaasire,
3Olw’eddoboozi ery’okubwatuka, abantu balidduka,
4Omunyago gwo, gukungulwa enzige ento,
5Mukama agulumizibwe, kubanga atuula waggulu,
6Y’aliba omusingi omugumu mu biro byo,
7Laba abasajja abazira ab’amaanyi bakaabira mu nguudo mu ddoboozi ery’omwanguka,
8Enguudo ennene tezitambulirwako,
9Ensi ekungubaga era eyongobera,
10Mukama agamba nti, “Kaakano nnaagolokoka,
11Ofuna olubuto olw’ebisusunku,
12Abantu balyokebwa nga layimu bw’ayokebwa,
13Mmwe abali ewala, mutegeere kye nkoze.
14Abakozi b’ebibi ab’omu Sayuuni batidde,
15Atambulira mu butuukirivu,
16ye muntu alituula waggulu mu bifo ebya waggulu,
17Amaaso go galiraba kabaka mu bulungi bwe,
18Omutima gwo gulifumiitiriza ku ntiisa ng’ogamba nti,
19Toliddayo kulaba bantu abo ab’amalala,
20Tunuulira Sayuuni ekibuga eky’embaga zaffe,
21Weewaawo Mukama aliba Amaanyi gaffe
22Kubanga Mukama ye mulamuzi waffe,
23Emiguwa gyo gisumulukuse
24Tewali abeera mu Sayuuni alyogera nti, “Ndi mulwadde,”