1Obunnabbi obukwata ku Kiwonvu ky’Okwolesebwa:
2ggwe ekibuga ekijjudde oluyoogaano,
3Abakulembeze bo bonna baddukidde wamu;
4Kyenava njogera nti, “Munveeko,
5Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku
6Eramu ayambalidde omufuko gw’obusaale,
7Ebiwonvu byo ebisinga obulungi bijjudde amagaali,
8Okwerinda kwa Yuda kuggyiddwawo.
9Walaba amabanga agaali mu kwerinda
10Wabala ebizimbe mu Yerusaalemi
11Wasima ekidiba omuterekebwa amazzi wakati w’ebisenge ebibiri,
12Ku lunaku olwo Mukama Katonda ow’Eggye
13Naye laba, ssanyu na kujaguza,
14Mukama ow’Eggye akimbikulidde n’aŋŋamba nti, “Ekibi kino tekirisonyiyibwa wadde okuggyibwawo okutuusa lw’olifa,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
15Bw’ati bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye nti,
16Okola ki wano era ani yakuwadde olukusa
17“Weegendereze Mukama Katonda anaatera okukuvumbagira,
18Alikuzingazingako,
19Ndikuggya ku ntebe yo,
20“Mu biro ebyo nditumya omuweereza wange Eriyakimu mutabani wa Kirukiya.
21Ndimwambaza ekyambalo kyo, ne munyweza n’olukoba lwo, ne mukwasa obuyinza bwo. Aliba kitaawe w’abo ababeera mu Yerusaalemi, n’eri ennyumba ya Yuda.
22Ndimukwasa ekisumuluzo ky’ennyumba ya Dawudi; bw’aliggulawo tewaliba aggalawo, bw’aliggalawo tewaliba aggulawo.
23Ndimunyweza mu kifo ng’enkondo ennene, era aliba ntebe ya kitiibwa eri ennyumba ya kitaawe.
24Ekitiibwa ky’ennyumba ye kiribeera ku nnyumba ye, ne ku zadde lye ne ku nda ye yonna, ne ku bintu bye ebinywerwamu, okuva ku bibya okutuuka ku nsumbi.”
25Bw’ati bw’ayogera Katonda ow’Eggye nti, “Ku lunaku olwo, enkondo ennene eyakomererwa mu kifo n’enywera erisalibwa, n’eneguka, n’egwa, n’omugugu gw’ekutte gulisarwako.” Mukama ayogedde.