1Ensibuka erimera ng’eva ku kikonge kya Yese,
2Mwoyo wa Mukama alibeera ku ye,
3Era n’essanyu lye liribeera mu kutya Mukama Katonda.
4naye anaasaliranga abaavu emisango mu bwenkanya,
5Obutuukirivu, bwe buliba olukoba lwe yeesibya,
6Omusege gulisulanga wamu n’omwana gw’endiga,
7Ente n’eddubu biririira wamu,
8N’omwana ayonka alizannyira ku kinnya ky’enswera,
9Tewalibeera kukolaganako bulabe
10Awo ku lunaku luli, muzzukulu wa Yese aliyimirira ng’ebendera eri amawanga. Oyo amawanga gwe ganaanoonyanga, n’ekifo kye eky’okuwummuliramu, kiribeera kya kitiibwa.
11Era ku lunaku olwo Mukama aligolola omukono gwe omulundi ogwokubiri11:11 Abayisirayiri bwe baali bava e Misiri ogwo gwe mulundi ogwasooka. okununula abasigalawo ku bantu be, okubaggya mu Bwasuli ne mu Misiri ne mu Pasuloosi ne mu Kuusi ne mu Eramu ne mu Sinaali ne mu Kamasi ne mu bizinga eby’omu nnyanja.
12Era aliwanikira amawanga bbendera, akuŋŋaanye abawaŋŋanguse ba Isirayiri;
13Olwo obuggya bwa Efulayimu bulyoke buggweewo,
14Bombi awamu balirumba ne bamalawo Abafirisuuti mu busozi bw’ebugwanjuba;
15Era Mukama Katonda alikaliza
16Era abo abalisigalawo ku bantu be balibeera n’ekkubo ery’okuyitamu ery’eggwanga