1Nga zibasanze abo abateeka amateeka agatali ga bwenkanya,
2okulemesa abaavu ne batafuna nsala ebagwanidde;
3Mulikola mutya ku lunaku Mukama lwalisalirako omusango
4Muliba temusigazza kya kukola kirala wabula okutwalibwa nga mukutaamiridde mu busibe
5“Zikusanze Bwasuli, omuggo gw’obusungu bwange,
6Mmutuma okulumba eggwanga eritatya Mukama,
7Naye kino si kye kigendererwa kye,
8‘Abaduumizi bange bonna tebenkana bakabaka?’ bw’atyo bw’ayogera.
9‘Kalino tetwakizikiriza nga Kalukemisi,
10Ng’omukono gwange bwe gwawamba obwakabaka obusinza bakatonda ababajje,
11nga bwe nakola Samaliya ne bakatonda baabwe abalala
12Mukama bw’alimaliriza omulimu gwe ku lusozi Sayuuni era ne ku Yerusaalemi n’alyoka abonereza kabaka w’e Bwasuli olw’okwewaana n’okuduula kwe n’entunula ye ey’amalala.
13Kubanga yayogera nti,
14Ng’omuntu bw’akwata mu kisu,
15Embazzi eyinza okweyita ey’ekitalo okusinga oyo agitemesa?
16Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda Ayinzabyonna,
17Ekitangaala kya Isirayiri kirifuuka omuliro,
18Era kiryokya ne kimalirawo ddala ekitiibwa ky’ebibira bye,
19N’emiti egy’omu kibira kye egirisigalawo giriba mitono nnyo
20Awo olulituuka ku lunaku olwo, abaliba bafisseewo ku Isirayiri,
21Ekitundu ekirifikkawo kirikomawo, ekitundu kya Yakobo
22Kubanga wadde abantu bo bangi ng’omusenyu gw’ennyanja,
23Kubanga Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye alireeta
24Noolwekyo Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye kyava ayogera nti,
25Kubanga mu kaseera katono nnyo
26Mukama Katonda ow’Eggye alibakuba n’akaswanyu
27Ku lunaku olwo, omugugu gwe guliggyibwa ku bibegabega byo,
28Laba eggye ly’omulabe lituuse liwambye Yagasi,
29Bayise awavvuunukirwa, e Geba
30Kaaba n’eddoboozi ery’omwanguka ggwe omuwala wa Galimu!
31Madumena adduse,
32Olwa leero bajja kusibira Nobu,
33Laba, Mukama, Mukama Katonda ow’Eggye,
34Era alitemera ddala n’embazzi ebisaka by’omu kibira;