We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

1 Basessaloniika 5

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 1 Basessaloniika 4 1 Basessaloniika

1Naye ku bikwata ku by’entuuko n’ebiro, abooluganda, ssetaaga kwongera kubawandiikira.

2Kubanga mmwe mwennyini mumanyi bulungi nti olunaku lwa Mukama waffe lulijja ng’omubbi bw’ajja ekiro.

3Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.

4Naye mmwe, abooluganda abaagalwa temuli mu kizikiza ku nsonga zino, era temugenda kwekanga lunaku olwo ng’abayingiriddwa omubbi;

5Kubanga mmwe mwenna muli baana ba musana era baana ba butangaavu. Tetuli ba kiro yadde ab’ekizikiza.

6Noolwekyo tuleme kwebaka ng’abalala naye tutunulenga okwegomba kuleme okutufuga.

7Kubanga abeebaka beebaka kiro, n’abatamiira batamiira kiro.

8Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe.

9Kubanga ffe Katonda teyatulondera kufukibwako kiruyi kya busungu, wabula okutulokola ng’ayita mu Mukama waffe Yesu Kristo,

10eyatufiirira ka tube nga tuli balamu oba nga tufudde, tulyoke tubeere balamu wamu naye.

11Kale mugumyaganenga era muzimbaganenga nga bwe mubadde mukola.

12Kaakano tubeegayirira abooluganda, mumanye abafuba okukola emirimu mu mmwe era ababakulembera mu Mukama waffe era abababuulirira,

13mubassengamu nnyo ekitiibwa mu kwagala olw’omulimu gwabwe. Mubenga bantu ba mirembe.

14Tubakuutira abooluganda, mubuulirirenga abagayaavu, mugumyenga abo abalimu okutya, muyambenga abatalina maanyi, mubenga bagumiikiriza eri abantu bonna.

15Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna.

16Musanyukenga ennaku zonna.

17Musabenga obutayosa.

18Mwebazenga olwa buli kintu kyonna, kubanga ekyo Katonda ky’abaagaliza mmwe abali mu Kristo Yesu.

19Temuzikizanga Mwoyo Mutukuvu,

20era temunyoomanga abo aboogera eby’obunnabbi,

21naye mwekenneenyenga ebintu byonna, kale bwe bibanga ebirungi mubinywezenga.

22Mwewalenga buli ngeri ya kibi.

23Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.

24Oyo eyabayita mwesigwa era alikituukiriza.

25Abooluganda, naffe, mutusabirenga.

26Mulamuse abooluganda bonna mu kulamusa okutukuvu.

27Mbalagira mu linnya lya Mukama waffe ebbaluwa eno mugisomere abooluganda bonna.

28Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe.

← 1 Basessaloniika 4 1 Basessaloniika

1 Basessaloniika 5 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™