We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

1 Basessaloniika 4

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 1 Basessaloniika 3 1 Basessaloniika 1 Basessaloniika 5 →

1Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo.

2Kubanga mumanyi ebiragiro bye twabawa mu Mukama waffe Yesu.

3Kubanga Katonda ayagala mutukuzibwe, era mwewalenga obwenzi,

4buli omu ku mmwe amanyenga okufuga omubiri gwe mu butukuvu n’ekitiibwa,

5so si mu kwegomba okw’obukaba ng’abamawanga abatamanyi Katonda bwe bakola.

6Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa.

7Kubanga Katonda teyatuyitira bugwenyufu wabula yatuyitira kutukuzibwa.

8Noolwekyo anyooma bino aba tanyoomye muntu wabula Katonda, atuwa Omwoyo we Omutukuvu.

9Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.

10Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga.

11Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira,

12mutambule nga mwegendereza eri abatakkiriza, mube nga mwemalirira mu buli nsonga.

13Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi.

14Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu.

15Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa.

16Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira,

17naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.

18Kale buli omu agumyenga munne n’ebigambo ebyo.

← 1 Basessaloniika 3 1 Basessaloniika 1 Basessaloniika 5 →

1 Basessaloniika 4 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™