1Batabani ba Leevi baali
2Batabani ba Kokasi ne baba
3Ate abaana ba Amulaamu baali
4Eriyazaali n’azaala Finekaasi,
5Abisuwa n’azaala Bukki,
6Uzzi n’azaala Zerakiya,
7Merayoosi n’azaala Amaliya,
8Akitubu n’azaala Zadooki,
9Akimaazi n’azaala Azaliya,
10Yokanaani n’azaala Azaliya (oyo ye yaweerezanga nga kabona mu yeekaalu sulemaani gye yazimba mu Yerusaalemi);
11Azaliya n’azaala Amaliya,
12Akitubu n’azaala Zadooki,
13Sallumu n’azaala Kirukiya,
14Azaliya n’azaala Seraya,
15Yekozadaki yatwalibwa mu buwaŋŋanguse Mukama bwe yawaayo Yuda ne Yerusaalemi mu mukono gwa Nebukadduneeza.
16Batabani ba Leevi baali
17Gano ge mannya g’abatabani ba Gerusomu,
18Batabani ba Kokasi baali
19Batabani ba Merali baali
20Abaava mu Gerusomu baali
21ne Yowa,
22Bazzukulu ba Kokasi baali
23Erukaana muzzukulu we,
24Takasi muzzukulu we, Uliyeri muzzukulu we, Uzziya muzzukulu we, ne Sawuli muzzukulu we.
25Batabani ba Erukaana baali
26ne bazzukulu be nga be ba Erukaana, ne Zofayi,
27ne Eriyaabu,
28Batabani ba Samwiri baali
29Bazzukulu ba Merali baali
30ne Simeeyi, ne Kaggiya
31Bano be basajja Dawudi be yalonda okukulira eby’ennyimba mu nnyumba ya Mukama, essanduuko ng’eteekeddwamu.
32Baaweererezanga mu nnyimba mu maaso g’ekuŋŋaaniro ey’Eweema ey’Okusisikanirangamu, okutuusa Sulemaani lwe yazimba yeekaalu ya Mukama mu Yerusaalemi. Era bakolanga emirimu gyabwe, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa.
33Bano be basajja abaaweerezanga, wamu ne batabani baabwe:
34muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yerokamu,
35muzzukulu wa Zufu, muzzukulu wa Erukaana,
36muzzukulu wa Erukaana, muzzukulu wa Yoweeri,
37muzzukulu wa Takasi, muzzukulu wa Assiri,
38muzzukulu wa Izukali, muzzukulu wa Kokasi,
39Kemani yalina muganda we Asafu eyamuyambangako mu mulimu ogwo, era n’ab’enju ye baali bwe bati:
40muzzukulu wa Mikayiri, muzzukulu wa Baaseya,
41muzzukulu wa Esuni,
42muzzukulu wa Esani, muzzukulu wa Zimma,
43muzzukulu wa Yakasi,
44Ne baganda be abalala abaamuyambangako baali abazzukulu ba Merali, mutabani wa Leevi,
45muzzukulu wa Kasukabiya,
46muzzukulu wa Amuzi, muzzukulu wa Bani,
47muzzukulu wa Makuli,
48Baganda baabwe Abaleevi baavunaanyizibwanga okukola emirimu gyonna egy’omu Weema, ye Nnyumba ya Katonda.
49Naye Alooni ne batabani be ne bazzukulu be, be baawangayo ku kyoto ebiweebwayo ebyokebwa ne ku kyoto eky’okwoterezangako obubaane olw’ebyo byonna ebyakolebwanga mu Kifo ekisinga Obutukuvu, olw’okutangirira Isirayiri, nga Musa, omuddu wa Katonda bwe yalagira.
50Bano be baava mu nda ya Alooni:
51muzzukulu we Bukki,
52muzzukulu we Merayoosi, muzzukulu we Amaliya,
53muzzukulu we Zadooki,
54Bino by’ebifo ebyabaweebwa okutuulamu ng’ensi yaabwe era bino bye byali biweereddwa bazzukulu ba Alooni Abakokasi, kubanga be baasooka okufuna omugabo.
55Baaweebwa Kebbulooni mu nsi ya Yuda, n’amalundiro agakyetoolodde,
56naye ennimiro n’ebyalo ebyetoolodde ekibuga ekyo, byaweebwa Kalebu mutabani wa Yefune.
57Bazzukulu ba Alooni baaweebwa Kebbulooni, ekibuga eky’okwekwekamu, Libuna n’amalundiro gaakyo,
58Kireni n’amalundiro gaakyo, Debiri n’amalundiro gaakyo,
59Asani n’amalundiro gaakyo, ne Besusemesi n’amalundiro gaakyo.
60Ate n’okuva eri ekika kya Benyamini baaweebwa Gibyoni6:60 Gibyoni erinnya eryo teryali mu muzingo ogwawandiikibwa mu Lwebbulaniya ne Geba, ne Allemesi, ne Anasosi wamu n’amalundiro gaabyo. Ebibuga byonna awamu ebyaweebwa Abakokasi byali kkumi na bisatu.
61Bazzukulu ba Kokasi abalala baweebwa ebibuga kkumi okuva ku nda ez’ekitundu ky’ekika kya Manase nga bakuba akalulu.
62Bazzukulu ba Gerusoni, ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bisatu okuva ku bika bya Isakaali, Aseri, Nafutaali, n’okuva ku kika kya Manase mu Basani.
63Bazzukulu ba Merali ng’enda zaabwe bwe zaali, baaweebwa ebibuga kkumi na bibiri okuva ku bika bya Lewubeeni, Gaadi ne Zebbulooni.
64Awo Abayisirayiri ne bawa Abaleevi ebibuga ebyo ne babaweerako n’amalundiro byabyo.
65N’ebibuga okuva mu bika bya Yuda, ne Simyoni ne Benyamini ebyogeddwako byabaweebwa nga bakuba akalulu.
66Enda ezimu eza Kokasi zaaweebwa ebibuga okuva eri ensi y’ekika kya Efulayimu.
67Okuva eri ensi ya Efulayimu baaweebwa Sekemu, ekibuga ky’obuddukiro, Gezeri,
68ne Yokumyamu, ne Besukolooni,
69ne Ayalooni ne Gasulimmoni, n’amalundiro gaabyo.
70N’okuva eri ekitundu ky’ekika kya Manase, Abayisirayiri ne babagabira Aneri ne Biryamu, wamu n’amalundiro byako eri enda ezaali zisigaddewo eza Kokasi.
71Abagerusomu baaweebwa ebifo bino wansi:
72Okuva eri ekika kya Isakaali baafuna Kedesi, Daberasi
73Lamosi ne Anemu wamu n’amalundiro gaabyo (byako);
74okuva eri ekika kya Aseri, baafuna Masali, Abudoni,
75Kukkoki ne Lekobu wamu n’amalundiro gaabyo;
76n’okuva eri ekika kya Nafutaali baafuna Kedesi eky’omu Ggaliraaya, ne Kammoni ne Kiriyasayimu wamu n’amalundiro byako.
77Abaleevi abaali basigaddewo, be bazzukulu ba Merali, baaweebwa ebifo bino wansi:
78okuva eri ekika kya Lewubeeni, emitala wa Yoludaani ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’e Yeriko, baafuna Bezeri ekiri mu ddungu, Yaza,
79Kedemosi ne Mefaasi wamu n’amalundiro byabyo;
80n’okuva eri ekika kya Gaadi baafuna Lamosi ekiri mu Gireyaadi, Makanayimu,
81Kesuboni ne Yazeri wamu n’amalundiro byabyo.