We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

1 Ebyomumirembe 4

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← 1 Ebyomumirembe 3 1 Ebyomumirembe 1 Ebyomumirembe 5 →

1Bazzukulu ba Yuda abalala baali

2Leyaya mutabani wa Sobali n’azaala Yakasi, ne Yakasi n’azaala Akumayi ne Lakadi. Bano baali ba mu nnyumba ya Abazolasi.

3Ne bano, be baali baganda ba Etamu,

4Penueri n’azaala Gedoli, ne Ezeri n’azaala Kusa.

5Asukuli n’azaala Tekowa eyalina abakyala babiri omu nga ye Keera omulala nga ye Naala.

6Naala n’amuzaalira Akuzzamu, ne Keferi, ne Temeni ne Kaakusutali; era abo be baali abaana ba Naala.

7Keera n’amuzaalira

8ne Kakkozi eyali kitaawe wa Anubu, ne Zobeba, ate n’aba jjajja w’ennyumba ya Akalukeri mutabani wa Kalumu.

9Yabezi yali wa kitiibwa okusinga baganda be, ne nnyina n’amutuuma erinnya Yabezi amakulu nti, “Namuzaalira mu bulumi.”

10Yabezi n’akoowoola Katonda wa Isirayiri ng’agamba nti, “Ompeere ddala omukisa, ogaziye ensalo yange! Omukono gwo gubeere wamu nange, gunkuume obutagwa mu kabi konna, nneme okulumwa mu mutima.” Katonda n’addamu okusaba kwe.

11Kerubu muganda wa Suwa, n’azaala Mekiri, ate nga kitaawe wa Esutoni.

12Esutoni n’azaala Besulafa, ne Paseya, ne Tekina eyali omukulembeze wa Irunakasi. Bano be basajja ab’e Leka.

13Batabani ba Kenazi baali

14Myonosaayi n’azaala Ofula.

15Batabani ba Kolebu mutabani wa Yefune baali

16Batabani ba Yekalereri baali

17Batabani ba Ezula baali

18Abo be baana ba muwala wa Falaawo Bisiya, Meredi gwe yali awasizza.

19Kodiya n’azaala abaana mu mwannyina wa Nakamu

20Batabani ba Simoni baali

21Batabani ba Seera mutabani wa Yuda baali

22Yokimu ye yali jjajja w’abasajja ab’e Kozeba, ne Yowaasi ne Salafu abaafuganga Mowaabu ne Yasubirekemu. (Ebigambo bino bya mu biseera bya dda).

23Abo be baali ababumbi b’ensuwa abaabeeranga e Netayimu n’e Gedera, era baabeeranga mu lubiri lwa kabaka nga bamukolera.

24Batabani ba Simyoni baali

25Mutabani wa Sawuli yali Sallumu, ne bazzukulu be nga be Mibusamu ne Misuma.

26Mutabani wa Misuma yali

27Simeeyi yalina abaana aboobulenzi kumi na mukaaga n’aboobuwala mukaaga, naye baganda be tebalina baana bangi, ekika kyabwe kyekyava tekyala nnyo ng’ekya Yuda.

28Babeeranga mu Beeruseba, ne Molada, ne Kazalusuwali,

29ne Biruka, ne Ezemu, ne Toladi,

30ne Besweri, ne Koluma, ne Zikulagi,

31ne Besumalukabosi, ne Kozalususimu, ne Besubiri ne Saalayimu. Bino byali bibuga byabwe okutuusa Dawudi lwe yalya obwakabaka.

32Ebyalo byabwe ebirala byali Etamu, ne Ayini, ne Limmoni, ne Tokeni ne Asani, byonna awamu by’ebitaano,

33n’ebyalo ebirala byonna ebyali byetoolodde ebibuga ebyo okutuukira ddala e Baali.

34Mesobabu, ne Yamulaki,

35ne Yoweeri,

36Eriwenayi, ne Yaakoba, ne Yesokaya,

37ne Ziza mutabani wa Sifi muzzukulu wa Alooni, muzzukulu wa Yedaya, muzzukulu wa Simuli, muzzukulu wa Semaaya.

38Abo aboogeddwako baali bakulu ba bika byabwe.

39Be basenguka okwolekera omulyango gwa Gedoli ekiri ku luuyi olw’ebuvanjuba lw’ekiwonvu, nga banoonya aw’okulundira ebisibo byabwe.

40Baalaba omuddo omugimu omulungi, n’ensi yali ngazi, ng’erimu emirembe era nga nteefu. Bazzukulu ba Kaamu be baaberangamu edda.

41Abasajja abo aboogeddwako baaliwo mu mirembe gya Keezeekiya kabaka wa Yuda, era baalumba eweema za bazzukulu ba Kaamu n’Abamewuni abaabeeranga omwo ne babazikiririza ddala, obutalekaawo muntu n’omu wadde ekintu kyonna. Ne babeeranga omwo kubanga waaliyo omuddo ogw’okuwa ebisibo byabwe.

42Awo abamu ku batabani ba Simyoni, abasajja enkumi ttaano nga bakulembeddwamu Peratiya, ne Neyaliya, ne Lefaya ne Wuziyeeri batabani ba Isi ne balumba Seyiri ensi ey’ensozi.

43Era baazikiriza n’ekitundu ky’Abamaleki ekyali kisigaddewo, oluvannyuma ne basenga eyo, okutuusa olunaku lwa leero.

← 1 Ebyomumirembe 3 1 Ebyomumirembe 1 Ebyomumirembe 5 →

1 Ebyomumirembe 4 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™