We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Tito 2

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Tito 1 Tito Tito 3 →

1Naye ggwe yogeranga ebyo ebitayawukana na njigiriza entuufu.

2Kubirizanga abasajja abakulu babe bateefu, abassibwamu ekitiibwa, abeegendereza, abajjudde okukkiriza, okwagala n’okugumiikiriza.

3Abakazi abakulu nabo bakubirize bw’otyo babe n’empisa ezisaanira abantu ba Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebatamiira, wabula nga bayigiriza ebirungi,

4balyoke basobole okugunjula abakazi abato okwagalanga ba bbaabwe awamu n’abaana baabwe.

5Era babenga beegendereza, era abalongoofu, era abakola obulungi emirimu mu maka gaabwe, era abawulize eri ba bbaabwe, ekigambo kya Katonda kiremenga okuvvoolebwa.

6N’abavubuka bakubirizenga babe beegendereza,

7mu bintu byonna, ng’obeera ekyokulabirako ekirungi mu byonna by’okola, ng’oli mwesimbu era assaayo omwoyo mu kuyigiriza kwo.

8Buli ky’oyogera kiteekwa okuba nga tekiriiko kya kunenyezebwa, oyo awakanya alyoke aswale, nga talina kibi kya kukwogerako.

9Era kubirizanga abaddu bawulirenga bakama baabwe era babagonderenga mu byonna, nga tebabawakanya,

10wadde okubabbangako ebyabwe. Wabula babenga beesigwa ddala mu byonna, nga beeyisa bulungi, abantu balyoke bayaayaanire okuyigiriza kwa Katonda Omulokozi waffe mu buli ngeri yonna.

11Kubanga ekisa kya Katonda ekireetera abantu bonna obulokozi kirabise,

12era kituyigiriza tuleke obutatya Katonda, n’okwegomba kw’ensi, tulyoke tube beegendereza, abatuukirivu abatya Katonda nga tuli mu mulembe gwa kaakano;

13nga tulindirira olunaku lwe tusuubira, n’okulabika kw’ekitiibwa kya Katonda omukulu era Omulokozi waffe Yesu Kristo;

14eyeewaayo ku lwaffe, alyoke atununule mu bujeemu bwaffe bwonna, era yeerongooseza eggwanga ery’envuma, erinyiikirira ebikolwa ebirungi.

15Ebyo by’obanga oyigiriza abantu. Buuliriranga era nenyanga n’obuyinza bwonna. Omuntu yenna takunyoomanga.

← Tito 1 Tito Tito 3 →

Tito 2 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™