1Otege okutu kwo, Ayi Mukama, owulire okusaba kwange, onnyanukule,
2Okuume obulamu bwange, kubanga nkuweereza n’obwesigwa.
3Onsaasire, Ayi Mukama,
4Osanyuse omuweereza wo Ayi Mukama;
5Ddala ddala olina ekisa era osonyiwa, Ayi Mukama;
6Owulire okusaba kwange, Ayi Mukama;
7Bwe nnaabanga mu buzibu nnaakukoowoolanga;
8Mu bakatonda bonna tewali ali nga ggwe, Ayi Mukama;
9Ayi Mukama amawanga gonna ge watonda
10Kubanga oli mukulu, era okola ebyewunyisa;
11Onjigirize ekkubo lyo, Ayi Mukama,
12Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama Katonda wange, n’omutima gwange gwonna;
13Okwagala kwo okutaggwaawo kungi nnyo gye ndi;
14Ayi Katonda, ab’amalala bannumba,
15Naye ggwe, Mukama Katonda oli musaasizi era ow’ekisa,
16Onkyukire, onsaasire,
17Nkolera akabonero akalaga ebirungi byo,