1Ayi Katonda, kabaka omuwe okuba omwenkanya,
2alyoke alamulenga abantu bo mu butuukirivu,
3Ensozi zireeterenga abantu bo okukulaakulana
4Anaalwaniriranga abaavu,
5Abantu bakutyenga ng’enjuba n’omwezi gye bikoma
6Abeere ng’enkuba bw’etonnya ku muddo ogusaliddwa,
7Obutuukirivu bweyongere nnyo mu mulembe gwe,
8Afugenga okuva ku nnyanja okutuuka ku nnyanja,72:8 Kyalowoozebwanga nti ensi yakomanga ku Nnyanja ey’Omunnyo okumpi n’Ennyanja Ennene, eya Meditereniyaani.
9Ebika eby’omu malungu bimugonderenga,
10Bakabaka b’e Talusiisi72:10 Talusiisi kyali mu Esupaniya, era eyo ye yalowoozebwa okuba enkomerero y’ensi. n’ab’oku bizinga eby’ewala
11Bakabaka bonna banaavuunamanga mu maaso ge;
12Kubanga anaawonyanga eyeetaaga bw’anaamukoowoolanga,
13Anaasaasiranga omunafu n’omwavu;
14Anaabanunulanga mu mikono gy’omujoozi n’abawonya obukambwe bwe;
15Awangaale!
16Eŋŋaano ebale nnyingi nnyo mu nsi,
17Erinnya lye libeerengawo ennaku zonna,
18Mukama Katonda agulumizibwe, Katonda wa Isirayiri,
19Erinnya lye ekkulu ligulumizibwenga emirembe n’emirembe!
20Okusaba kwa Dawudi mutabani wa Yese kukomye awo.