1Emmeeme yange ewummulira mu Katonda yekka;
2Ye yekka, lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange;
3Mulituusa ddi nga mulumba omuntu,
4Bateesa okumuggya
5Emmeeme yange ewummulire mu Katonda yekka;
6Ye yekka lwe lwazi lwange era bwe bulokozi bwange,
7Okulokolebwa kwange n’ekitiibwa kyange biri mu Katonda yekka;
8Mumwesigenga bulijjo mmwe abantu,
9Abaana b’abantu mukka bukka,
10Temwesigamanga ku bujoozi
11Katonda ayogedde ekintu kimu,
12era ggwe, Ayi Mukama, ojjudde okwagala.