1Ayi Katonda, twawulira n’amatu gaffe,
2Nga bwe wagoba amawanga mu nsi
3Ekitala kyabwe si kye kyabaleetera okuwangula ensi,
4Ggwe oli Kabaka wange, era Katonda wange;
5Ku lulwo tunaawangulanga abalabe baffe;
6Ddala ddala omutego gwange ogw’obusaale si gwe neesiga,
7Wabula ggwe otulokola mu balabe baffe,
8Twenyumiririza mu Katonda olunaku lwonna.
9Naye kaakano otusudde ne tuswala;
10Watuzza emabega okuva mu bifo mwe twali ng’abalabe baffe balaba,
11Watuwaayo okuliibwa ng’endiga;
12Watunda abantu bo omuwendo mutono nnyo,
13Watufuula ekivume eri baliraanwa baffe,
14Otufudde ekinyoomebwa mu mawanga gonna;
15Nswazibwa obudde okuziba,
16olw’abo abangigganya, abanvuma nga tebandabamu ka buntu,
17Ebyo byonna bitutuseeko,
18Omutima gwaffe tegukuvuddeeko,
19Naye ggwe otubonerezza n’otulekera emisege,
20Ddala singa twerabira erinnya lya Katonda waffe,
21ekyo Katonda waffe teyandikizudde?
22Katonda waffe, tetukuvuddeeko, kubanga ku lulwo tuttibwa obudde okuziba,
23Golokoka Ayi Mukama, lwaki weebase?
24Lwaki otwekwese?
25Ddala ddala tusuuliddwa mu nfuufu;
26Golokoka otuyambe;