1Mutendereze Mukama!
2Mukama azimba Yerusaalemi;
3Azzaamu amaanyi abo abalina emitima egimenyese,
4Mukama ategeka omuwendo gw’emmunyeenye;
5Mukama waffe mukulu era wa kitiibwa; amaanyi g’obuyinza bwe tegatendeka,
6Mukama awanirira abawombeefu,
7Muyimbire Mukama ennyimba ez’okumwebaza;
8Mukama abikka eggulu n’ebire,
9Ente aziwa emmere, ne bannamuŋŋoona abato abakaaba abaliisa.
10Essanyu lya Mukama teriri mu maanyi ga mbalaasi,
11wabula Mukama asanyukira abo abamussaamu ekitiibwa,
12Tendereza Mukama ggwe Yerusaalemi,
13kubanga ebisiba enzigi zo, ye abinyweza,
14Aleeta emirembe ku nsalo zo;
15Aweereza ekiragiro kye ku nsi;
16Ayaliira omuzira ku ttaka ne gutukula ng’ebyoya by’endiga enjeru,
17Omuzira agukanyuga ng’obuyinjayinja;
18Mukama aweereza ekigambo kye, omuzira ne gusaanuuka;
19Yategeeza Yakobo ekigambo kye;
20Tewali ggwanga na limu lye yali akolaganye nalyo bw’atyo;