1Ayi Mukama nkukaabira; oyanguwe okujja gye ndi!
2Okusaba kwange kubeere ng’ebyakaloosa mu maaso go,
3Onkuume, Ayi Mukama, nneme okwasamya akamwa kange,
4Okyuse omutima gwange guleme kugoberera kibi,
5Leka omuntu omutuukirivu ankube, kubanga anaaba ankwatiddwa ekisa;
6Abakola ebibi bwe baliweebwayo eri ab’okubasalira omusango,
7Balyogera nti, “Ng’omuntu bw’akabala n’akuba amavuunike,
8Naye nze amaaso ngatadde ku ggwe, Ayi Mukama Katonda;
9Nkuuma omponye omutego gwe banteze,
10Ebitimba bye banteze abakola ebibi abo bonna, baleke babigwemu, kyokka nze mpone.