We Believe JesusFé, Esperança e Nova Vida

Zabbuli 136

Biblica® Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya ekwatiddwa ku katambi™ · luba-catanga

← Zabbuli 135 Zabbuli Zabbuli 137 →

1Mwebaze Mukama kubanga mulungi,

2Mwebaze Katonda wa bakatonda bonna,

3Mwebaze Mukama w’abafuzi,

4Oyo yekka akola ebyamagero ebikulu,

5Oyo eyakola eggulu mu kutegeera kwe,

6Oyo eyabamba ensi ku mazzi,

7Oyo eyakola ebyaka ebinene,

8Enjuba yagikola okufuganga emisana,

9Omwezi n’emmunyeenye yabikola okufuganga ekiro,

10Oyo eyatta ababereberye b’Abamisiri,

11N’aggya Isirayiri mu Misiri,

12Yabaggyamu n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola;

13Oyo eyayawulamu amazzi g’Ennyanja Emyufu,

14N’ayisa abaana ba Isirayiri wakati waayo,

15Naye n’asaanyaawo Falaawo n’eggye lye mu Nnyanja Emyufu;

16Oyo eyakulembera abantu be mu ddungu,

17Ye yafufuggaza bakabaka abaatiikirivu,

18N’atta bakabaka ab’amaanyi,

19Ye yatta ne Sikoni, kabaka w’Abamoli,

20Era ye yatta ne Ogi kabaka wa Basani,

21N’awaayo ensi yaabwe okuba obutaka,

22Okuba obutaka bwa Isirayiri omuddu we,

23Oyo eyatujjukira nga tuweddemu ensa,

24N’atuwonya abalabe baffe,

25Oyo awa abantu n’ebiramu byonna ekyokulya,

26Kale mwebaze Katonda w’eggulu,

← Zabbuli 135 Zabbuli Zabbuli 137 →

Zabbuli 136 — luba-catanga:

Biblica® Ochiw Thuolo Motingʼo Loko Manyien™