1Omutima gwange munywevu, Ayi Katonda;
2Muzuukuke, mmwe entongooli n’ennanga ey’enkoba,
3Nnaakutenderezanga, Ayi Mukama, mu bantu bonna,
4Okwagala kwo kunene, kutumbiira okutuuka ku ggulu;
5Ogulumizibwenga, Ayi Katonda, okuyisa eggulu;
6Tulokole otuyambe n’omukono gwo ogwa ddyo,
7Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu n’agamba nti,
8Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange.
9Mowaabu be baweereza bange abawulize;
10Ani anantuusa ku kibuga ekigumu ekinywevu?
11Si ggwe, ayi Katonda, atusudde,
12Tudduukirire nga tulwanyisa abalabe baffe,
13Bwe tunaabeeranga ne Katonda tunaabanga bawanguzi;