1Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira,
2mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu,
3nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka,
4nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.
5Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,
6ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,
7wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,
8ne yeetoowaza,
9Katonda kyeyava amugulumiza,
10buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,
11era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,
12Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana.
13Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.
14Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka,
15mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi,
16nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa.
17Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna.
18Era nammwe musanyukire wamu nange.
19Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako.
20Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange,
21kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo.
22Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri.
23Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera.
24Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.
25Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange,
26ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala.
27Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera.
28Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina.
29Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa,
30kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.