1Abakozi b’ebibi badduka nga tewali abagoba,
2Eggwanga bwe lijeema, liba n’abafuzi bangi,
3Omufuzi anyigiriza abaavu,
4Abo abava ku mateeka ga Mukama batendereza aboonoonyi,
5Abantu abakozi b’ebibi tebategeera bwenkanya,
6Omuntu omwavu atambulira mu butuukirivu,
7Oyo akuuma amateeka ga Mukama mwana eyeegendereza,
8Ayongera ku bugagga bwe mu bukumpanya,
9Atassaayo mwoyo kuwulira mateeka ga Mukama,
10Buli akyamya abatuukirivu mu kkubo ebbi,
11Omugagga alowooza nti mugezi,
12Abatuukirivu bwe bawangula wabaawo okujaguza okw’amaanyi,
13Oyo akweka ebibi bye, talifuna mukisa kukulaakulana,
14Alina omukisa omuntu atya Mukama ebbanga lyonna,
15Ng’empologoma ewuluguma oba eddubu eritiisatiisa,
16Omufuzi nantagambwako tafuga na bwenkanya,
17Omuntu alumirizibwa olw’okutta munne,
18Omuntu atambulira mu bugolokofu alinunulibwa talibeerako kabi,
19Omuntu alima ennimiro ye aliba n’emmere nnyingi,
20Omusajja omwesigwa aliweebwa emikisa mingi,
21Okuttira abantu ku liiso ng’osala emisango si kirungi,
22Omusajja omukodo yeegomba okugaggawala,
23Oyo anenya omuntu, oluvannyuma aliganja,
24Buli anyaga kitaawe, oba nnyina,
25Omuntu ow’omululu aleeta oluyombo,
26Eyeesiga omutima gwe, musirusiru,
27Agabira abaavu talibaako ne kye yeetaaga,
28Abakozi b’ebibi bwe babeera mu buyinza, abantu beekweka,