1Engero za Sulemaani, mutabani wa Dawudi, kabaka wa Isirayiri.
2Yaziwandiika okuyigiriza abantu okuba n’amagezi n’okuyiga,
3Sulemaani yayagala abantu okuba n’empisa, n’obulamu obw’amagezi,
4okuyigiriza amagezi abatalina bumanyirivu,
5N’abantu ab’amagezi nabo bwe bawulira beeyongere okuyiga
6Era engero zino zaawandiikibwa okutegeera engero,
7Kale mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera,
8Mwana wange ossangayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawo,
9bijja kuba ngule eneeweesanga omutwe gwo ekitiibwa,
10Mwana wange abakozi b’ebibi bwe bakusendasendanga,
11Bwe bakugambanga nti, “Tugende ffenna twesanyuse,
12ng’entaana bw’emira abantu, naffe tubamire tutyo nga bakyali balamu,
13nga twefunira eby’obugagga bye tutakoleredde,
14ng’ababi batuyita tubeegatteko,
15Mwana wange totambuliranga wamu nabo,
16Kubanga ebigere byabwe bidduka bunnambiro okukola ebibi,
17Nga kuba kumala biseera okutega omutego,
18naye abantu ng’abo baba beetega bokka,
19Bwe lityo bwe libeera ekkubo lya buli muntu anoonya okugaggawalira mu bukyamu.
20Amagezi galeekaanira waggulu mu nguudo;
21Ne galeekaanira waggulu, mu kifo enguudo ennene we zisisinkanira,
22Mulituusa ddi mmwe ab’amagezi amatono obutayagala kweyongera kuyiga by’amagezi,
23Kale singa muwuliriza okunenya kwange,
24Kubanga na bayita ne mugaana okuwuliriza,
25era ne mutafaayo ku magezi ge nabawa,
26kale nange ndibasekerera nga muli mu nnaku,
27Entiisa bw’eribajjira ng’omuyaga omungi,
28kale balinkoowoola, naye siriyitaba;
29Kubanga baakyawa okuyigirizibwa, n’okumanya,
30Ne bagaana okuwuliriza amagezi gange;
31Kyebaliva balya ebibala eby’ekkubo lyabwe ebbi,
32Obusirusiru bulitta ab’amagezi amatono
33naye buli ampuliriza anaabeeranga mirembe,